TOP
  • Home
  • News
  • Poliisi etaasizza Amuriat okusula mu kkubo

Poliisi etaasizza Amuriat okusula mu kkubo

Added 24th November 2020

Amuriat ng'ali e Terego.

Amuriat ng'ali e Terego.

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma lw'emmotoka mw'atambulira okukwamira mu luguudo wakati.

Amuriat, yabadde ava kusisinkana abawagizi be mu Rhino Camp, mu disitulikiti y'e Madi-Okollo, ng'ayolekera akabuga k'e Okollo.

Buli eyabaddewo yagezezzaako okuleeta ekirowoozo ekiyinza okuyamba emmotoka ya Amuriat, okuvaawo naye ne balemererwa.

Oluvannyuma akwanaganya kkampeyini za Amuriat, era nga ye mubaka akiikirira Munisipaali y'e Rukungiri mu palamenti, Roland Kaginda Mugume, yapondoose
ne yeegayirira kabangali ya poliisi eyabadde ebalondoola buli we balaga n'ebayamba okusikawo emmotoka.

Abatuuze mu kitundu kino baategeezezza nti, embeera y'enguudo naddala mu bitundu by'e Jawura, mu ggombolola y'e Ogoko, mbi, era nga kino kikuumidde ekitundu
kino emabega.

Omu ku bavuganya ku kifo ky'omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Madi - Okollo, Gloria Aciro, yategeezezza nti oluguudo luno oluyitibwa Inde, lwe lugatta disitulikiti y'e Madi - Okollo ku y'e Nebbi.

Amuriat, yasoose kwogerako eri abawagizi be mu kabuga k'e Kamukamu mu ggombolola y'e Rigbo, mu disitulikiti y'e Madi- Okollo.

Yeeyongeddeyo mu kabuga k'e Ulepi, gye yakalaatidde abawagizi be okulonda FDC ku
buli mutendera okutandikira ku Pulezidenti okutuuka ku bassentebe b'ebyalo.

"Bannange mbasaba olunaku lw'okulonda munoonye oyo yekka alina akabonero k'ekisumuluzo tusobole okuggulawo okuyingira mu Uganda empya,"Amuriat bwe yabasabye.

Leero, Amuriat lwamaliriza okukuba kkampeyini mu disitulikiti eziri mu West Nile,
era ng'akomekkereza ne disitulikiti bbiri; Nebbi, ne Pakwach olwo enkya atandike disitulikiti za Bunyoro.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gen.Tumukunde asiimye abaga...

ABADDE avuganya ku bwapulezidenti mu kalulu akaakaggwa, munnamagye eyawummula, Lt. Gen Henry Tumukunde agambye...

Abavubuka nga beetisse omulabo gwa munnaabwe okugwetoolooza tawuni y’e Kiyunga.

Owa NUP eyattibwa aziikiddwa

ABANTU bangi beetabye mu kuziika omuvubuka Rogers Ssemakula 25, eyali ow’ekibiina kya NUP, eyabuzibwaawo abantu...

Omuyimbi Geosteady asiramuse

OMUYIMBI Geosteady ng'amanya amatuufu ye George Kigozi asiraamuse kati ye Hassan Kigozi era ne bamutooza ne Shahaduh...

Rebecca Kadaga awadde Gavum...

SIPIIKA wa Palamenti Rebeeca Kadaga awadde gavumenti amagezi okwongera amaanyi mu bamusiga nsimbi enzalwa eza wano...

Biden ng’ateeka omukono ku gamu ku mateeka amapya ge yayisizza nga yaakamala okulayira.

BIDEN: Ebikyuse mu ssaawa 1...

DONALD Trump yatunuulidde amaka g'Obwapulezidenti aga White House nga tegalekeka kyokka ng'akadde kamuweddeko n'akwata...