TOP
  • Home
  • News
  • Be baagoba ku ttaka ly'ebibira nja kubaliyirira - Tumukunde

Be baagoba ku ttaka ly'ebibira nja kubaliyirira - Tumukunde

Added 24th November 2020

Tumukunde mu lukungaana.

Tumukunde mu lukungaana.

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza mu ggwanga.

Tumukunde avuganya ku Bwapulezidenti yasinzidde mu disitulikiti y'e Kakumiro, Kibaale ne Kagadi n'agamba nti alina entegeka y'okusasula abantu bonna abaagobwa ku ttaka ly'ebibira kwe baali baludde.

Yasuubizza n'okumalawo ekizibu ky'amasaza agaabula aga Buyaga ne Bugangaizi
kuba ensonga eno eremye okugonjoolwa Gavumenti zonna ezizze zibeera mu buyinza.

Kyokka olukuηηaana lwe yabadde ategese e Karuguuza baalumulemesezza, omubaka wa Pulezidenti, Deborah Mbabazi bwe yalugaanye ng'agamba nti baabadde tebagoberedde mateeka ga byabulamu agalwanyisa Corona.

Ebyenjigiriza yagambye nti alina entegeka y'okulaba ng'abikyusa omuntu abeere nga
w'amalira okusoma abeera asobola okwetandikirawo omulimu mu kifo ky'okunoonya okukozesebwa.

Tumukunde yatenderezza poliisi olw'okuba nga yabadde yeeyisizza mu ngeri y'obuvunaanyizibwa mu nkuηηαana zonna ze yakubye.

Maxwell Babyesiza yagambye nti ayagala Pulezidenti anaddako afeeyo okulwanyisa enguzi mu bakozi ba Gavumenti evuddeko okutunda emirimu. Justine Mbabazi
owe Mabaale yagambye nti ayagala omukulembeze anaafaayo ku byenjigiriza ng'azimba amasomero era gabeeremu ebikozesebwa eby'omulembe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...