
Ssaabasumba Lwanga ( ku ddyo) mu kusabira Fr. Lumanyika.
SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n'awa n'abakuumaddembe amagezi
okukendeeza okukozesa eryaanyi erisukkiridde ku bantu.
Bino yabyogeredde mu Lutikko e Lubaga bwe yabadde akulembedde Mmisa y'okusabira Rev. Fr. Joseph Nsubuga Lumanyika abadde omuluηηamya w'ebyeddiini ku
ssomero lya St. Augustine College Wakiso.
Ssaabasumba yategeezezza nti buli muntu asaanye okubeera n'emirembe ne Katonda we, baliraanwa be n'ensi yonna wakati mu kwefumintiriza ku mmotto
y'eggwanga lyaffe.
Yasabye bannabyafuzi okukomya okukozesa ebigambo ebisiga obukyayi mu bantu wabula
babuulire abantu bye bagenda okubakolera bwe baba basinziira okubalonda.
Alabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa Covid-19 n'abasaba okugoberera ebiragiro
bya minisitule y'ebyobulamu.
Alabudde abavubuka okukomya okukozesa olulimi okusiiga obukyayi n'okwenyigira mu
bikolwa ebyeffujjo, bye yagambye nti si birungi.