
Omugenzi Omulangira Jjuuko
OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko ssentebe wa zzooni eno okumala emyaka
25 kwabaddemu ebyewuunyisa.
Bwe yali tannafa yaleka awadde ebiragiro ku ngeri gy'ayagala aziikibwe era yabadde yaakakutuka ne batandikirawo okubissa mu nkola.
Yalagira nti tewabeerawo muntu amukung'aanyiza mabugo era n'awa aba ffamire
ye ebiragiro nti bakozese ku ssente ze kubanga afudde yeesobola era amabugo tegaasondeddwa.
Yalagira nti tebageza ne bamusabira mu ddiini yonna. Nti keesi ye tebagiteekako
kabonero konna kalaga ddiini okugeza omusaalaba oba okumuliraanya
olugoye lwonna mu ddiini y'Obusiraamu.
Era yalagira nti nga bamukungubagira bakube nnyimba zokka za kusanyuka ezitali za
ddiini naddala eza Lingala era obwedda endongo y'esindogoma mu lumbe ekyewuunyisizza abakungubazi.
Omu ku bavubuka abadde nfa nfe we, Abdul Bogere era nga yeesimbyeewo
ku bwakkansala mu kitundu ekyo yawadde obujulizi obukkaatiriza ebiragiro
ye bye yayise ekiraamo n'ategeeza nti yamuyita ne batuula mu ddiiro
lye ng'obulwadde bumuluma n'abategeeza nti okuziika bwe kuggwa nga balagirawo omusika era ye mutabani we Jjuuko Nakibinge.
Ssentebe wa NRM atwala Kampala Central, Salim Uhuru yennyamidde okufiirwa omukulembeze w'ekibiina kyabwe mu kaseera kano ak'okunoonya obululu kyokka ne yeewuunya engeri gy'aziikiddwa nga bakuba miziki gya lingala gyabadde asinga
okwagala.
"Mutebi namuwangula ku bwassentebe bw'ekyalo naye twasigala tukolagana bulungi era enkulaakulana gye mulaba mu Kisenyi tugikoze naye era Katonda amusaasire ebyamusobako," Ssentebe Saad Lukwago bwe yagambye.
Mutebi nga yayatiikirira nnyo mu bukulembeze bwe olw'amasappe ng'avuga mmotoka
ez'ebbeeyi okuli Land Cruser VX, Range Rover Sport nga zonna kuliko mannya ge (Mutebi) ate abadde ayambala ebikomo bya zaabu yenna.
Ku bukulembeze bwa zzooni eno, Mutebi yavuddeko mu kulonda okwakaggwa wakati
mu kusika omuguwa okwaliwo okumala ekiseera wabula n'asigala nga yakwatidde NRM bbendera mu kitundu kino.
Tom Mugerwa omu ku banywanyi b'omugenzi yagambye nti, "Mutebi atutte ekiseera ng'atawaanyizibwa endwadde ez'enjawulo era yatwalibwako n'e Buyindi gye yajjanjabirwa n'atereera okutuusa ku Ssande ku ssaawa 3:00 Katonda we yamujjuludde
okuva mu bulamu bw'ensi eno.
Mutebi abadde omu ku bagagga mu zzooni ya Muzaana mu Kisenyi ng'alina amayumba g'abapangisa agawerako. Omulambo gwasuze mu maka g'e Naluvule-Wakiso
gye gwaggyiddwa ku Mmande ne gutwalibwa ku bijja ku kyalo Buwasa -Namayumba mu Wakiso gye yaziikiddwa eggulo.
Y'omu ku bassentebe b'ebyalo abasinga obugagga. Wabula mu biseera bya Wembley eyaduumirwa Elly Kayanja yakwatibwa ng'ateeberezebwa okuba nti ye yali
agula ebibbe mu Kisenyi kyokka bambega ne banoonyereza era
ne bazuula nti teyalina bukyamu bwonna.