
Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.
OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be okuva mu kkomera e Kitalya oluvannyuma lw'okumweyimirirwa ku 300,000/- ez'obuliwo buli omu era n'abalagira okudda mu kkooti nga 16/12/2020.
Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, omulamuzi Okumu ow'ekkooti y'eddaala erisooka e
Makindye yasindika Ssewanyana ne banne mu kkomera e Kitalya oluvannyuma lw'okubasomera omusango gw'okukuba olukung'aana oluteeka obulamu bw'abantu mu katabyaga k'okukwatiibwa obulwadde bwa Corona.
Ssewanyana yakwatibwa poliisi y'e Katwe n'abawagizi be bana okuli; Robert Musisi,
Ivan Wasswa, Isa Musisi ne Maria Nabwase, kigambibwa nti omusango guno baaguddiza ku Lwasa Trading Centre ku luguudo lw'e Salaama mu Makindye nga 15 /11/2020.
Okuwulira okusaba okw'okweyimirirwa kwa Ssewanyana ne banne kukoleddwa nga
beeyambisa enkola eya tekinologiya omuggya owa Teleconfrencing ku kkooti enkulu mu
Kampala.