
Fr. Mugisha
FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi
Wine azzeemu okuta akaka n'alabula nti tewali agenda kumutiisatiisa.
Yalabudde nti bwe kibeera kyetaagisa kufa ng'ayogera amazima ajja kukikola
kyokka abakola ebikyamu nabo balina okweddako okusobola okutaasa eggwanga okugwa mu katyabaga.
Fr. Mugisha ng'aweerereza ku kigo ky'e Bisanje mu ssaza lya Klezia e Masaka, ku ntandikwa y'omwezi guno yasinzidde mu maka g'omugenzi Nzera e Kyango mu
kisomesa ky'e Kyango mu kigo ky'e Matale e Kaliisizo n'awanda omuliro!
Yalagidde abantu balonde abantu abagenda okutwala ensi mu maaso kubanga omumyuka wa pulezidenti Edward Ssekandi abadde mu palamenti okuva mu lukiiko olwabaga konsitityusoni kyokka n'okutuusa leero tewali luguudo lwa kolaasi lutuuka
wuwe e Kyannamukaaka, kyokka nga Ssekandi y'omu eyakomyewo n'ategeeza
abantu nti agenda kubasakira.
Yakyukira Gavumenti n'abakulira ebyokwerinda olw'okweyambisa abantu abaabadde mu ngoye zaabulijjo okukkakkanya obujagalalo obwasaanikidde eggwanga nga
beekalakaasa olw'okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi.
Fr. Mugisha yayongeddeko nti obuvunaanyizibwa bwe ng'omusaseredooti kwe kwogera
amazima awatali kwetiiririra.
Yeekkokkodde ebyobufuzi ebijjuddemu obukyayi ebyalabiddwako ebivuddeko
n'abantu okuva ku langi ez'enjawulo ze bambala olw'okutya okutuusibwako obuzibu.
Yeewuunyizza okubeera nti embeera yatuusizza abantu abamu okweyambula engoye zaabwe ne batambula bwereere olwokutya okubatuusaako ebizibu.
Yagambye nti kino kisaanye okusalirwa amagezi mu bwangu ddala ng'abalina obuyinza
bakola ku bizibu by'abavubuka.
Yasabye abakulembera eggwanga baddemu okuzimba eggwanga nga bamalawo enjawukana mu mawanga n'obukyayi mu by'obufuzi.
Ebigambo bya Fr. Mugisha ebyasooka byafulumira ku katambi ne kabuna emikutu gya yintanenti era bakama be ku kitebe ky'essaza e Masaka baamuyita ne bamukwasa
Faaza Ronald Mayanja omwogezi w'essaza okumulambika.