TOP
  • Home
  • News
  • Museveni alaze by'agenda okukolera ab'e Mbale

Museveni alaze by'agenda okukolera ab'e Mbale

Added 25th November 2020

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale kisobozese ekibuga kino okwongera okugaziwa n'okukulaakulana.

Ekibira kino kya byafaayo nga Pulezidenti Museveni mwe yatolokera mu mwaka gwa 1973, amagye ga Amin bwe gaali gamutaayizza.

Museveni era akkiriza bamakanika bonna abakanikira mu kibuga Mbale okusenguka badde ku ttaka ly'ekibira kino ly'awaddeyo, wabula yakubirizza abakulembeze b'omu Mbale okufuna ettaka eddala we basengulira ekibira kino nga basimba emiti ekibira kino kireme kusaanawo bwe kityo.

Ensonga evuddeko pulezidenti okuwaayo ekibira kino kivudde ku kubeera nti bamakanika babadde ku ttaka lya kkanisa ng'essaawa yonna babagobaganya.

Pulezidenti okwogera bino yabadde Mbale mu kisaawe ky'essomero lya Mbale SSS mu kkmpeyini ze ez'obwapulezidenti, era nga wano waakunganiddewo bakulembeze ba NRM okuva mu distulikitti y'e Mbale, Manafwa , Bududa n'e Namisindwa.

Museveni era yeeyamye okuyambako okuddaabiriza olubiri lw'omukulembeze w'ennono 'Umukhukha' n'okwongera okuwa Abagisu emirimu mu bifo ebya waggulu mu gavumenti.

Ku by'ettaka eribumbulukuka mu bitundu ebyebunguludde olusozi Masaaba, Museveni yagambye nti baakwongera okutondawo ebibuga mu kitundu kino basengula abantu abali mu nsozi olwo ensozi zibeere nga zirimwamu n'okukola ng'ekyobulambuzi.

Abawagizi Ba Museveni E Mbale.

Yawadde ekyokulabirako nga mu mawanga okuli Girimaani ne Japan bwe baasalawo ensozi okuzirimirako n'okuzikuumirako ebibira olwo abantu ne basula mu bibuga.

Yakoonye ku ky'okubazimbira enguudo era ne bategeeza nti singa banaabeera bamulonze ebitundu 90 ku 100 mu kalulu ka 2021 bino byonna by'abasuubiza waakubibakolera mu bwangu.

Wabula Museveni yasabye abakulembeze ba NRM e Mbale okukomya enjawukana wabula bakolere wamu ku lw'obulungi bw'ekibiina era n'asuubiza okubasisinkana okwongera okugonjoola obutakkaanya obuliwo.

Wabula abamu ku bavuganya ku kifo ky'omubaka w'ekibuga ky'e Mbale okuli Connie Galiwango ne Lydia Wanyoto baayongedde okweraga eryanyi Wanyoto bwe yakakasizza nti ye yawangula bendera ya NRM ku kifo kino kyokka ate ye Galiwango n'awera nti si waakulekera Wanyoto kakibeere ki.

Gawalingo yakolimye n'ategeeza nga bwe baabadde bamuziyiza obutabeera mu lukung'aana lwa pulezidenti yadde nga yamaze n'alwetabamu. Ebimu ku bintu b'e Bugisu bye baagala okubakolera kwe kuli okubazimbira oluguudo obuwanvu bwa kiromita 234 oluva e Mbale okutuuka mu bitundu bya Acholi, okubazimbira Olubiri lw'obwakabaka bwabwe, okubawa emirimu n'ebirala .

Ab'e Bugisu baakwasiza Museveni effumu n'omuggo ne bamutuuza mu ntebe ng'akabonero k'obuyinza n'obuzira ne bamugattirako ebigambo: genda otabaale otuuke ku buwanguzi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Biden ng’alayira ate mukyala we Jil y’akutte Babiyibuli ewezezza emyaka 127.

Okulayiza Pulezidenti wa Am...

PULEZIDENTI Joe Biden alayidde n'aggyawo amateeka mangi abadde Pulezidenti, Donald Trump ge yateekawo mu myaka...

Engeri Judith gye yatengula...

Lwe baasisinkana mu wooteeri Judith olumu yapangisa ekisenge mu wooteeri emu e Mbarara ku mwaliiro gwe gumu...

Emisanvu abaserikale gye baatadde mu kkubo erigenda ewa Kyagulanyi ali mu katono.

Poliisi erabudde ababaka ba...

POLIISI erabudde ababaka b'ekibiina kya NUP abakoze enteekateeka okutwalira mukama waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu...

Ntagali ne mukazi we maama Beatrice.

Engeri omukazi gye yatega N...

OMUKAZI ayasudde mu bizibu Dr. Stanley Ntagali yasooka kugonza maama muka Ssaabalabirizi Ntagali gwe yabuulira...

Omugenzi Bp.Kaggwa

Bp. Kaggwa nga tannafa poli...

OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde ekirwadde kya corona naye nga tannafa poliisi...