
Biden ne Trump
AMAGYE ga Amerika n'ebitongole ebikessi bitandise okuwa Joe Biden ebyama oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump okupondooka n'akkiriza ebitongole bya gavumenti okutandika okukolagana naye (Biden) okumuteekateeka nga Pulezidenti addako.
Wabula wadde alagidde ebitongole okukolagana ne Biden, Trump akyagaanyi okukkiriza nti yawanguddwa Biden mu kalulu k'Obwapulezidenti n'ategeeza nti okunooneyereza okukoleddwa kulaga nti abawagizi be 70 ku 100 bagamba nti akalulu kabbibwa noolwekyo ye waakusigala ng'akyagoba ku misango gye yagguddewo mu masaza ag'enjawulo gy'alumiriza nti baamubbye obululu.
Ebyava mu kalulu ka November 3, 2020 biraga nti Biden yawangudde n'obululu 79,887,852 (51.1%) ku bululu 73,815,488 (47.2%) obwa Trump nga Biden yafunye n'obululu obw'enkizo 306 ku bwa Trump 362.
Mu bubaka bwe yatadde ku mukutu ogwa Twitter, Trump yagambye nt yabbiddwa obululu bwe era emisango akyagitwala mu maaso kyokka ku lw'obulungi bwa Amerika, asazeewo okukkiriza ebitongole bya gavumenti okukola enteekateeka ezeetaagisa okukyusa obukulembeze.
Ekiragiro Trump kye yawadde ku Lwokubiri kyawalirizza Muky. Emily Murphy, akulira ekitongole kya Government Services Administration (GSA) ekivunaanyizibwa ku by'enzirukanya y'emirimu gya gavumenti emitongole okuwandiikira Biden ng'amulambika by'alina okufuna nga Pulezidenti omulonde nga yeetegekera okulayizibwa nga January 20, 2021.
Kyokka Muky. Murphy yawabudde nti tekitegeeza nti yakkirizza obuwanguzi bwa Biden wabula yayagadde kukkakkanya ku mbeera ebaddewo olwa Trump okugaana okukkiriza ebyava mu kulonda.
Mu bwangu nga Emily ayogedde ebyo, Trump yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa twitter n'agamba nti; Nzikaanya ne Emily ne ttiimu ye bye basazeewo. Kino wabula tekitegeeza nti emisango gye nawaaba mu kkooti givuddewo. Nkyabiriko ate n'amaanyi mangi nga manyi nti nja kuwangula.
Ebitongole by'ebyokwerinda omuli CIA, FBI n'ekitebe ky'amagye ga Amerika ekya Pentagon byatandikiddewo okuwa Biden ebyama ku byokwerinda bya Amerika n'amawulire amalala ameekusifu.
Ebimu ku biwalirizza Trump okukkiriza wadde tannayatula bulungi kwe kukizuula nga kkooti gy'azze awaaba olw'okumubba obululu mu masaza omuli Michigan, Wisconsin, Georgia, Pennsylvania, Arizona ne Nevada zizze zisala emisango egiraga nti talina nsonga emugaana kukkiriza byava mu kulonda kubanga talina bujulizi ku bya kumubba.