
Bobi Wine ng'ali e Kagadi.
Sobi, omusajja ow'omutawaana ennyo ng'amannya ge amatuufu ye Paddy Sserunjogi, okulondoola Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine' kitabudde abawagizi be.
Balabirizza poliisi ne baggya omukka mu mipiira gy'emmotoka mwe bateebereza nti Sobi mw'atambulira. Abawagizi ba Bobi, kino baakikoledde Kibaale nga bwe babuuza nti ‘lwaki Sobi otulondoola!'
Baagezezzaako okuggula emmotoka eyo bakakase oba mwali wabula poliisi n'ebalemesa.
Bobi bwe yabadde e Bundibugyo ku Lwokubiri, yategeezezza abawagizi be nti yabadde agudde mu lukwe lw'okumubaako kye bamukola nga kati poliisi yamutaddeko Sobi amulondoole.
Eggulo poliisi e Kibale yalemesezza Bobi Wine okukuba olukungaana mu kifo kye yabadde ategese okwogereramu ne bamutegeeza nti takkirizibwa
kulukubawo.
Yasanze bakiise ebimotoka bya poliisi mu kkubo. Baamulagidde agende mu kifo ekirala ne bamulaga ekkubo eddala kyokka bwe yalikutte yasibidde ku kkomera.
Wano yavuddewo n'asalawo okusazaamu olukungaaana n'ategeeza abawagizi be nti
yabadde yeeyongerayo Hoima mu lukungaana olusembayo ku lunaku olwo.
Yabadde afuluma ekibuga n'asanga nga nawo poliisi esuddewo emisanvu ne bamulagirira ekkubo eddala ly'alina okuyitamu.
Yasoose kuwalira oluvannyuma n'apondooka ne bavuga okuyita mu makubo ag'ettaka mu byalo okweyongerayo e Hoima kyokka nga buli waayita bamuwereekereza ebigambo nti bw'abeera awangudde atandikire ku makubo gaabwe amabi okugakola.
Eggulo ku makya Bobi Wine yasimbudde Fort Portal gye yasuze ng'ava e Kasese. Yayingidde ekitundu kya Bunyoro okutandikira e Kagadi, Kibaale okutuuka e Hoima.
Ekkubo gye baamugobedde lyamututte ng'aggukira Kakumiro, era bwe yatuuseewo abantu baawo be baamunaazizzaako amaziga ga ttiyaggaasi w'e Kagadi ne Kibaale bwe baamwanirizza mu ssanyu n'amaanyi n'ayisa ebivvulu mu nguudo era baawerekedde mmotoka ye okutuusa lwe yamazeeko.
Poliisi yasoose kukuba ttiyaggaasi okugumbulula abantu ne balemerawo.Essaawa zaagenze okuwera 12:00 ez'akawungeezi nga Bobi tannaba kutuuka mu kibuga e Hoima we yabadde alina okukuba olukungaana olusembayo.