
Amuriat ng'ayogera n'abaserikale e Masindi.
ABAWAGIZI ba akwatidde FDC bendera ku Bwapulezidenti Patrick Oboi Amuriat, abaagudde ku kabenje e Got Panyimur, mu disitulikiti y'e Pakwach ku Lwokubiri, babongeddeyo mu malwaliro amanene okuli erya Lacor e Gulu ne Arua oluvannyuma lw'embeera yaabwe okwongera okubeera embi.
Amuriat, yasazizzaamu kkampeyini ze mu disitulikiti y'e Pakwach gye yali alina okubeera ku Lwokubiri olweggulo wabula oluvannyuma lw'okusisinkana abaffamire z'abagenzi wamu n'abaalumiziddwa, yasazeewo okukola ku by'okuziika n'okujjanjaba abali mu malwaliro.
Ababiri ku baasinze okukosebwa baabaggye mu ddwaaliro lya Nebbi General Hospital ne babatwala mu ddwaaliro lya Lacor, mu disitulikiti y'e Gulu ate abasatu abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Arua.
Amuriat, yategeezezza nti abantu abalala omusanvu abajjanjabirwa mu ddwaaliro lya
Angal St. Luke Hospital e Nebbi, basazeewo basigaleyo nga bwe balinda ebinaava mu bifaananyi bye baabakubye okulaba oba obuvune bwe baafunye beetaaga okutwalibwa mu malwaliro agalina abakugu abasingako.
Eggulo, Amuriat yakedde kunoonya buwagizi mu bitundu bya Bunyoro era nga yatandikidde mu disitulikiti y'e Kiryandongo, Masindi ne Buliisa.
Wabula yasanze akaseera akazibu nga buli katawuni k'atuukamu, poliisi temuganya
kwogera na bantu abaabadde bamulinze.
Olukungaana lwe olwasoose yalukubye Karuma, gye yavudde n'ayolekera e Diima ekiri mu ggombolola y'e Ntunda ne Kololo, nga poliisi emussizza akasiiso.
Wabula bwe yatuuse mu kitundu ky'e Bulerara ne Kiryandongo, aduumira poliisi mu kitundu kino, Joseph Bakaleke, yawaanyisiganyizza ebisongovu ne Amuriat lwa kumulemesa kwogerako eri abawagizi be abaabadde bamulinze. Kino kyavuddeko abawagizi be okutabuka.
Poliisi yasumuludde ttiyaggaasi ne babuna emiwabo. Ttiyaggaasi ono ne Amuriat
teyamutalizza n'ava mu mbeera era mu busungu n'alangira DPC Bakaleke, okubeera omutemu.
Mu ngeri esoomooza, Amuriat yavudde mu mmotoka ye n'agenda awali omuvubuka eyabadde asiika capati ng'agamba nti, enjala yabadde emuluma.
Mu kwogera kwe eri abawagizi be, Amuriat yagambye nti, waakufuba okulaba ng'alwanyisa ekibbattaka ekizingiddemu n'ebibira okuli ekya Bugoma.
Olwaleero ku Lwokuna Amuriat, lw'atongoza manifesito ye erimu by'ayagala okukolera Bannayuganda ssinga bamulonda ku Bwapulezidenti.