TOP
  • Home
  • News
  • Kkanisa ya Uganda etongozza kampeyini okulwanyisa okutulugunya abantu

Kkanisa ya Uganda etongozza kampeyini okulwanyisa okutulugunya abantu

Added 26th November 2020

Okuva ku kkono Ying. Ronald Kibuuka, Jolly Kamishani,Margaret Kaziimba ne Can. Dr. Ruth Senyonyi e Namirembe.

Okuva ku kkono Ying. Ronald Kibuuka, Jolly Kamishani,Margaret Kaziimba ne Can. Dr. Ruth Senyonyi e Namirembe.

EKKANISA ya Uganda etongozza kaweefube w'okulwanyisa ebikolwa by'okutulugunya abantu ng'abatulugunya basinziira ku kikula kyabwe agenda okumala ennaku 16.

Pulezidenti wa Mother's Union ow'Ekkanisa ya Uganda Can. Dr. Ruth Senyonyi bwe yabadde atongoza kaweefube ono ku Lutikko e Namirembe ku Lwokusatu, yategeezezza nti okunoonyereza kwe baakoze okuva mu July, kulaga nti ebikolwa by'okutulugunya byeyongedde mu kiseera ky'okusoomoozebwa kw'ekirwadde kya Corona, era nga n'abaami bangi basuddewo amaka gaabwe.

Yagambye nti, mu nnaku zino 16, baakuzikozesa okusomesa abafumbo amakulu g'obufumbo, okuyamba abali mu buzibu obw'engeri ezitali zimu, okubuulirira abafumbo, okubayigiriza engeri obutabanguko gye bujja n'engeri y'okubwewalamu n'okubasomesa okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi baleme kutunuulira nnyo baami.

Senyonyi yagambye nti, kaweefube ono baakumubunyisa mu Bulabirizi bwonna mu ggwanga ng'amaanyi baakugateeka mu kusomesa abazadde enkuza y'omwana omulenzi kubanga be bataata b'enkya ate ng'obutabanguko obusinga mu maka buva ku basajja.

Ying. Ronald Kibuuka ku lw'abaami Abakristaayo yategeezezza nti singa abazadde bonna beenyigira mu kugunjula n'okukuza abaana abalenzi mu mpisa ennungi kya kuyamba okulwanyisa ebikolwa eby'obutabanguko mu maka kubanga abasajja be basinga okuvaako embeera eno.

Yagasseeko nti wadde abakyala be basinga okuvaayo okweyogerako naye n'abaami bangi batulugunyizibwa mu ngeri ezitali zimu naddala nga balemereddwa okutuukiriza ebyetaago by'omu maka.

Kibuuka ayagala abazadde okubeera ekyokulabirako ekirungi eri abaana baabwe n'abavubuka nga babalaga akabi akali mu bikolwa eby'obutabanguko.

Florence Nassanga ssentebe w'ekibiina ekigatta abakazi mu nzikiriza ez'enjawulo ekya Women of Faith Network akubirizza abafumbo okukulembeza okwagala Katonda ne baliraanwa baabwe kubanga awali okwagala wabeerawo emirembe.

Margaret Kazimba yategeezezza nti tewali bufumbo butava eri Katonda kyokka abazadde balina obuvunaanyizibwa bw'okukulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe n'okukuliza abaana mu ddiini nga bajjukira nti obufumbo bwonna butandikira mu maka omwana mw'azaalibwa.

Kazimba agamba nti waliwo abantu abali mu bufumbo nga banoonya abaana tebabalaba kyokka abo Katonda b'abawadde balemeddwa okubagunjula n'okubalabirira ne babalekera abakozi ekivaako abaana okukula omuwawa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....