
Katikkiro Rugunda
KATIKKIRO wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda alabudde nti, obulwade bwa Corona kati buli ku mutendera omuzibu era n'asaba bassentebe ba LCI zonna mu ggwanga okulwanyisa corona.
Rugunda bino yabyogedde atongoza akakiiko k'oku byalo akagenda okusomesa n'okulwanyisa Corona nga basinziira ku byalo.
Obukiiko buno bwakusomesa abantu obulabe bwa Corona okuweereza lipoota mu minisitule y'ebyobulamu ku bantu ababa balaze obubonero bw'okuba n'ekirwadde kya Corona.
Minisita omubeezi ow'ebyobulamu, Joyce Kaducu yategeezezza nti obulwadde bwa Corona bweyongedde nnyo mu byalo.
Wabula nga Kampala ekutte kisooka mu disitulikiti ezisinga okuggyibwamu abafunye obulwadde buno nga buvudde ku bantu abatafuddeeyo kugoberera biragiro bya minisitule y'ebyobulamu ekivuddeko ekirwadde kino okulinnya buli lukya.
Minisita wa Gavumenti ez'ebitundu Rapheal Magyezi yategeezezza nti, buvunaanyizibwa bwa buli ssentebe w'ekyalo okulaba nga yeenyigira mu nteekateeka eno okulaba ng'ekirwadde kirwanyisibwa n'okukitangira okusaasaana.
Yategeezezza nti, bano bagenda kukwatagana n'abakulira ebyobulamu ku byalo okulaba nga basomesa abantu ku kirwadde kya Corona, okutangira abantu okukuba enkuhhaana, okubalagira okukozesa ssabbuuni n'amazzi mu bifo ewayinza okuba ekirwadde kino, abantu okwambala masiki buli lwe baba bakuhhaanye n'okutegeeza ab'ebyobulamu singa wabaawo azuuliddwamu ekirwadde.
Era yabakuutidde okugondera ebiragiro ebiriwo mu kiseera kino eky'omuggalo.