TOP
  • Home
  • News
  • Ono omubbi alula ! Babadde bamwokya ssentebe n'amutaasa

Ono omubbi alula ! Babadde bamwokya ssentebe n'amutaasa

Added 26th November 2020

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Okilu nga bamusiba bamwokye.

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba emiguwa bamwokye, ssentebe n'amutaasa.

James Okilu 28 omutuuze ku kyalo Kikoko mu ggombolola ye Busukuma mu Disitulikiti y'e Wakiso yasimattuse okufa abatuuze  bwe  baamukutte  lubona ng'abba  ebikozesebwa mu kuzimba okwabaadde sementi , akagaali n'ebirala.

 Baamusibye ku mpagi y'enju ng'abamu basazeewo bamwokye kuba ayitiridde obubbi, ssentebe w'ekitundu, Vincent Kisozi we yatuukidde n'ayita poliisi  n'emutaasa ku bantu abaabadde batasasirikako musale .

Kato Moses Mutyaba yategeezezza nti Okilu alina ekibinja ky'abavubuka abaatagala kukola nga basiiba mu kukuba zzaala, ng'ekiro batambula ku piki piki ne bamenya amaduuka n'amayumba.

Wano Okilu Ng'alinze Kwokebwa.

Nnamukadde Koniladi Agobye Okilu Ku Nju Ze.

Yagasseeko nti abantu tebanditwalidde mateeka mu ngalo naye poliisi ebamalamu amaanyi olukwata abamenyi b'amateeka babaggyamu ssente ne babayimbula .

Vincent Kisozi ssente w'ekyako yagambye nti ekibi tekisobola kuggyawo kibi ng'abatuuze kye baakoze eky'okusiba Okilu emiguwa kikyamu , yagasseeko n'abasaba abavubuka okukomya okwagala ssente ez'obwereere nga balina kukola

Okilu obwedda ebiyengeyenge bimuyitamu nga bw'asaba ekisonyiwo nga bwatagenda kuddamu kubba nga luno lwe lwasembye.

Ate Omukadde Koniladi nnannyini mayumba okusula Okilu yamulagidde oluva mu kkomera anoonye gy'alaga amuviire ku mayumba ge .


  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...