TOP
  • Home
  • News
  • Amuriat asuubizza ab'e Bunyoro ssente z'amafuta

Amuriat asuubizza ab'e Bunyoro ssente z'amafuta

Added 27th November 2020

Bannakibiina kya FDC abakulemeddwaamu Amuriat (ddyo), Birigwa, Nandala n’abalala nga bakwasa Atuha ebirabo.

Bannakibiina kya FDC abakulemeddwaamu Amuriat (ddyo), Birigwa, Nandala n’abalala nga bakwasa Atuha ebirabo.

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku bwa Pulezidenti asisinkanye abakungu mu bwakabaka bwa Bunyoro bamuwandeko edduse asobole
okutuuka ku buwanguzi.

Ng'anekedde mu kkanzu, Amuriat ayabadde mu bigere ebyereere, yatuuse ku Palamenti
y'obwakabaka bwa Bunyoro ku ssaawa 4:00 ez'oku makya n'ayanirizibwa omuwandiisi
w'olukiiko, Moses Atuha n'avunaanyizibwa ku mirimu gya Palamenti, Alex Katusabe.

Amuriat, yabadde n'akulira kampeyini ze, Amb. Wasswa Biriggwa, akulira akakiiko k'ebyokulonda mu FDC, Boniface Toterebuka Bamwenda, ssaabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi n'abavuganya ku bifo by'omubaka wa Palamenti mu Hoima City East-Miles Lwamiti, n'owabakyala Asinansi Nyakato, n'abalala bangi.

Atuha, yategeezezza nti Katikiro wa Bunyoro Daniel Rwakutaaga, eyabadde alina okwaniriza Amuriat ne ttiimu ye ku lw'Omukama, teyasobodde kubaawo olw'emirimu
emitongole gye yabaddeko mu Kampala.

Amuriat, yagambye nti ssinga si mafuta, Bunyoro ebadde tegenda kujjukirwa wadde ng'erina abantu abakozi ddala.

Yagambye nti ng'oggyeko okuzimbirwa enguudo n'ekisaawe ky'ennyonyi, Obukama bwa Bunyoro busaana bufune ebitundu bitaano ku buli kikumi okuva mu misolo eginaakuhhanyizibwanga mu mafuta beekulaakulanye.

Yagasseeko nti, ssinga anaaba atuuse mu buyinza, ajja kubongerako ebitundu biwere 10.
Wabula omuwandiisi w'olukiiko Moses Atuha, yamwanukudde nti, bo ng'Obukama bandyagadde babawe waakiri ebitundu 20 ku buli 100 ku misolo eginaakunganyizibwanga mu mafuta.

"Bunyoro ebyaayo ebikwata mpola naye kino tekitegeeza nti kye twagala tetukimanyi," Atuha bwe yategeezezza.

Amuriat, yasabye Obukama bwa Bunyoro okulwanirira abantu baabwe baleme okubagoba ku ttaka lyabwe be yayise bannakigwanyizi abaagala okukozesa omukisa
gw'ekyobuggagga ky'amafuta okunyigiriza Abanyoro.

Avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu mu Palamenti ya Bunyoro, Alex Katusabe, yagambye nti bo ng'Obukama baaniriza buli omu wabula n'asaba abeesimbyewo
okukuuma emirembe n'okutwala corona ng'ekikulu.

Amuriat, yawaddeyo "Ebikondo" mu Buganda ge bayita Amakula era oluvannyuma n'agendako mu disitulikiti y'e Kikuube n'ayongera okusaggula obuwagizi.

Oluvannyuma yakomyewo mu kibuga e Hoima n'atongoza manifesto
ye. Col.Kizza Besigye, naye omukolo guno yagubaddeko.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....