TOP
  • Home
  • News
  • Bobi alaze bw'agenda okugabanya ssente z'amafuta

Bobi alaze bw'agenda okugabanya ssente z'amafuta

Added 27th November 2020

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu ' ‘Bobi Wine' asuubizza ab'e Bunyoro nti ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda, abantu abagobeddwa ku ttaka lyabwe agenda kulibaddiza, azze n'abavubi ku nnyanja Muttanzige kwe bagobeddwa n'amafuta agali mu kitundu kyabwe ssente ezigavaamu azibaganyizeeko basobole okwekulaakulanya.

Yasuubizza okutumbula eby'obulimi kubanga ekitundu ky'e Masindi be bamu ku basinga okulima kasooli kyokka tebamufunamu era yafunye amawulire nti waliwo abalimi abagaana okuguza abaserikale kasooli nga babadondola ne basalawo okubawamba.

Bwe yatuuse e Buliisa yakubye olukungaana nga tatagaanyiziddwa n'agamba nti yasanze poliisi n'amagye nga bakutte emmundu n'emiggo bakuba abantu kubana by'ayogera bibazibula amaaso.

Nzize mpita mu bitundu nga ndaba abantu baavu nnyo naye njagala mumanye nti ensi yaffe ngagga kubanga wano we tuyimiridde waliwo eby'obugagga bingi.

Pulezidenti Museveni tayagala njogere nammwe kubanga amafuta ga Uganda yagafuula gage, ye nsonga lwaki akugira ffe abavaayo okubazibula amaaso.

Abaawamba eggwanga tebaagala mumanye bigenda mu maaso naye nze saagala muwagire nze Bobi Wine ng'omuntu wabula okuwagira enteekateeka ez'enkyukakyuka.

Tulina omukisa okubeera mu Uganda nga ffenna tweyagala. Oluguudo lwe mulaba bakola tebalukola kubanga babaagala naye basala magezi okulukola banguyirwe okutambuza amafuta gammwe baleke nga mwe abali mu kitundu temugafunyemu.

Bwe munaalonda obulungi, amafuta gammwe gagenda kufuuka gammwe, ettaka tebajja kulitwala, ennyanja eri mu kitundu kyammwe ejja kusigala nga yammwe era mulonde pulezidenti nga muweereza wammwe si mukama wammwe. Mujja kufuna emirimu era musigale nga mulina obulamu obulungi.

Wabula okwogera bino, bwe yabadde tannasimbula kuva Hoima, yasoose kulaga bweraliikirivu eri abawagizi be nti ekiseera kino waliwo abasajja abamulondoola
batambulira mu mmotoka ya magye, teriiko nnamba nga bali mu ngoye zaabulijjo balina emmundu.

Yabategeezezza nti obulamu bwe buli mu matigga kubanga yonna gye baayise abasajja bano be baabadde bawa abaserikale ba poliisi ebiragiro okumugaana okuyitawo n'okukuba amasasi.

Bwe yatuuse ku Hotel we yasuze, ekiro ku Lwokusatu yasanze, abaserikale b'amagye ne poliisi beebulungudde ekifo kyonna.

Eggulo Bobi yakedde kugenda ku Sipce FM e Hoima wabula yabadde ayingira situdiyo we baakamutemedde nti talina lukusa kwogerera ku leediyo eyo era yavuddeyo yecwacwana n'alinnya mmotoka okwolekera e Buliisa.

Ng'ayogera eri abamawulire yategeezezza nti yakawandiika ebbaluwa bbiri mu kakiiko k'ebyokulonda wabula akakulira Omulamuzi Simon Byabakama asirise tabaanukula.

Bwe yatuuse e Buliisa, eyabadde ayanjula abantu ku mukolo n'ategeeza nti abantu bangi batidde okutuuka mu kifo kino batiisibwatiisibwa abajaasi abo boolaba batwetoolodde.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....