TOP
  • Home
  • News
  • Lwaki Maradona mu Napoli gye yasinga okukolera erinnya

Lwaki Maradona mu Napoli gye yasinga okukolera erinnya

Added 27th November 2020

Ebijuujulu nga binywegera Maradona.

Ebijuujulu nga binywegera Maradona.

BAALI BAMUYAAYAANIRA;

Yeegatta ku Boca Juniors kyokka okusobola okubeezaawo kiraabu eno, aba Boca Juniors baalina okuzannya emipiira gy'omukwano mingi. Kino kyali kitegeeza kumukuba mpiso ezimuyamba okumujjanjaba obuvune bwe yafunanga olw'okuzannyanga emipiira gy'okumu kumu.

Eno ng'avuddeyo, yeegatta ku Barcelona mu ddiiru eyali esinga okuba ey'ebbeeyi mu kiseera ekyo. Baamukuba endobo era yamala emyezi 4 ng'ali wansi, mu myaka 2, Maradona yava mu Barcelona ne yeegatta ku Napoli. Eno ng'atuuseeyo, yasalawo okwambala 'shiini guard' bbiri maaso n'emabega ng'agamba nti basusse okumukuba endobo.

Ku ttiimu y'eggwanga, Maradona yakolerayo ebyafaayo ebirala ebikyaliwo n'okutuusa kati. Yabawangulira world Cup ya 1986 mwe yakubira Bungereza ggoolo ekyabaluma n'okutuusa kati. ‘Nnamanya nti gwali mukono gwange era nnakigenderera okukikola kyokka buli kimu kyali ku sipiidi era ddiifiri ne layini tebalaba nga mpanika omukono okukoona ku mupiira.'

Maradona yali ayogera ku ggoolo eno gye yakuba Bungereza. Maradona yakuba ggoolo ng'akozesa omukono gwe kyokka ddiifiri ne layina we bonna tebaakiraba ggoolo n'ebalwa. Yali yaakabakuba ggoolo eno, laba ate bw'abakuba ggoolo mwe yasalira ekisaawe okukimalawo. Ggoolo eno ye yalondebwa FIFA nga ggoolo y'ekyasa kya 20.

ENJAGA N'ABAKAZI BY'AMWONONA
Wadde nga ku kisaawe Maradona yali muganzi nga tewali amuwunyamu mu kiseera we yazannyira, twagenda okuyingira mu myaka gy'e 80 ng'ayize omuze gw'okunywa enjaga.

Maradona Ng'akutte Ekikopo Kye Baawangula Mu World Cup.

Maradona Ng'awa Messi Ebiragiro Ku Ttiimu Y'eggwanga

Abawagizi Ba Newell's Old Boys, Maradona Gye Yazannyirako Baakedde Kweyiwa Ku Nguudo Okumukungubagira.

Okwawukanako n'enjaga ya bulijjo, enjaga eno ebeera ya maanyi, abasinga mutera okugiraba mu ffirimu, ebeera ya buwunga era ekuba nnyo. Enjaga eno yatandika okugikozesa ng'ali mu Barcelona mu 1983 era yagenda okwegatta ku Napoli ng'omuze gukulidde ddala era nga n'omupiira gwe gutandise okuvumbeera.

Mu Napoli yali wa maanyi nnyo, nga tasobola na kutambulako ku nguudo, nga eno y'emu ku nsonga lwaki mu biseera ebye yayongera okukozesa enjaga olw'ekiwuubaalo ekingi.

Mu kiseera kye kimu ng'ali mu kibuga kya Naples, Maradona yakwatagana n'omu ku basajja abaali basinga okutigomya ekitundu kino Camora, yali atambuza enjaga. Yalina obubiina bw'ababbi, ne bakomando ab'omutawaana.

Maradona agamba nti okugenda ewuwe yali ayagala kufuna bukuumi oluvannyuma lw'abantu okumumalako emirembe.

Okumala ebbanga, Maradona abadde agenda mu malwaliro asobole okuva ku njaga naye ne bigaana era lumu mu 2000 yakubwako ekifaananyi ng'ali ne mukazi we ku ddwaaliro gye yali ajjanjabirwa enjaga.

Maradona gye yakoma okunywa enjaga, gye yakoma n'okwenyigira mu mize emirala okwali okunywa ennyo omwenge, okwagala nnyo abakazi, okulwanagana n'abantu n'emirala mingi. Lumu yakuba bannamawulire amasasi era n'asibwa.

Mu 1991, Maradona baamukwata n'enjaga ne bamuvunana ssaako n'okugitambuza nga bw'agitunda, ekyaddirira kwe kumukebera era ne kizuulibwa nti alimu enjaga. Ekyava mu kino, kusibwa emyezi 15 nga tasamba mupiira.

Mu 1994, emyaka 8 oluvannyuma lw'okuwangula World Cup, Maradona yajaguzaako ggoolo gye yakuba Greece n'agenda mu maaso ga kkamera ne yeekola obusolosolo. Ekyava mu kino ye FIFA okumukebera ne bamusangamu enjaga okukkakkana nga bamugobyeyo.

Bwe kituuka ku bakazi, Maradona yali muzibu nnyo. Lumu yanyumyanga nti waliwo ekiseera we yeebakanga n'abakazi abasukka mu 5 omulundi gumu ate era bonna n'abakozesa mu kiro kimu.

Ensonga enkulu eyamwawukanya ne mukazi we bwali bwenzi. Abaana b'ebbali babaleeta luvannyuma nga n'okukula bakuze era waliwo abalowooza nti abaana abalala bakyaliyo. Maradona yali akyogera lunye nti yali tasobola kubeerawo nga ‘bimaama' tabirabako era buli lwe yagendanga okulya ssente nga bimubeera kumpi ssente zisobole okumuwoomera obulungi.

MU ARGENTINA BAMUSINZA NGA DDIINI
Bw'ogenda mu Argentina, Maradona bamusinza nga Katonda era baamukolamu ebibumbe bye basinza nga baagala okufuna emikisa. Maradona ddiini nnamba mu Argentina.

Aba Argentina ssi be bokka abamusinza, mu kiseera we yabeerera mu Napoli, nabo baamusinzanga nga n'okutuusa kati bakyakikola. Okutuuka ku kitiibwa kino, Maradona yamala kubayamba kuwangula kikopo kyabwe ekyasooka mu Bulaaya bwe yawangula UEFA Cup kwossa n'okubawangulira ebya liigi 2.

BAMWOGEDDEKO
Lionel Messi; Omupiira guli mu nnaku olw'okuviibwako Maradona. Agenze naye tagenze kubanga Diego tafa.
Cristiano Ronaldo; Omu ku babadde basinga mu kintu kino. Agenze mangu nnyo kyokka alese omukululo munene nnyo. Teri ayinza kudda mu bigere bye. Tetugenda kumwerabira.
Pele; Tujja kuddamu tuzannye ffenna omupiira mu ggulu eyo gy'ogenze. Wummula mirembe.
Beckham; Nasanyuka nnyo bwe namala ne mmusisinkanako. Tugenda kumusubwa nnyo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...