TOP

Diego Maradona yaani?

Added 27th November 2020

Maradona ng'azannyisa omupiira.

Maradona ng'azannyisa omupiira.

MARADONA Y'ANI

Ye mwana owookutaano mu ffamire y'abaana 8. Yazaalibwa ku kyalo Lanus nga mayiro 25 okuva mu kibuga kya Buenos Aires, ekikulu ekya Argentina nga October 30, 1960 era yafiiridde ku myaka 60.

Ava mu ffamire ya Bakatoliki nnyo kyokka baakulira mu bwavu obw'ekitalo okwali n'okubulwa ekyokulya. Abantu mu ffamire eno baali basula mu nnyumba ya bisenge 3 eyazimbibwa mu mabaati amakadde agaali gasuuliddwa ku kkubo.

Ekyalo kino kye kimu ku byalo ebyali bisingako abamenyi b'amateeka okuli ababbi, abakwasi b'abakazi, abatemu, abayaga n'abalala abagwa mu kiti ekyo.

Lumu ng'ali e Yitale, Maradona yakubako essimu eyamalawo doola 15,000 (obukadde 44 mu za wano) nga akubira b'awaka ku babuuzako. Ebiseera bye bingi yabimalanga ku ssimu ng'anyuma ne nnyina ne baganda be abalala.

Maradona agenze okufa ng'alina abaana 5 kyokka 2 ku bano baali tebabamanyi. Yali yabazaala bbali ate n'abakweka. Mukyala we Claudia Villafane, 58, yazaala abawala babiri (Dalma 33, ne Ganina 31). Ono yamuwasa mu 1984 ate ne baawukana mu 2004 okuva olwo teyaddamu kuwasa mu butongole okuggyako okweyagala n'abakayala abenjawulo.

Maradona yazaala omwana w'obulenzi ng'ono y'asinga obuto mu 2013 sso ng'abaana abalala, Diego Junior, 34, ne Jana 23 yabakkirizza emyaka 5 emabega oluvannyuma lw'okuganza ba maama baabwe okumala akaseera akatono.

MARADONA MU MUPIIRA
Ku myaka 3 gyokka, taata we yamuwa omupiira ng'ekirabo ky'amazaalibwa era okuva olwo, obulamu bwe tebwasigala kye kimu. Ng'awezezza emyaka 8, Maradona yagenda ku Argentino Juniors okugezesebwa, wano abatendesi beewuunya ekitone kye era baategeeza nga bw'ali omusajja omukulu okusinziira ku mupiira gwe yali azannya.

Yeegatta ku akademi eno kyokka olw'okuba nti yali akola nnyo obubadi, baasalawo nti buli luvannyuma lw'omupiira gwabwe ku ttiimu enkulu, okuwummulamu ng'abazannyi bagenze mu kasenge, Maradona yali waakukoleranga balabi bubadi ku mupiira asobole okubabeesabeesa.

Kino kyasanyusanga nnyo abalabi era ttiimu yaabwe n'efuna abawagizi bangi naye bangi ku bo bajjanga kulaba bubadi bwa musaayimuto ng'omupiira guwummuddemu.

Ebiseera ebisinga baamusabanga n'akomawo ng'omupiira guwedde era n'abakolera obujogoli. Ku myaka 11 gyokka, tewali muntu yenna mu Argentina yali tamumanyi, ttiimu ye; Argentino Juniors yazannya emipiira 136 nga tebakubiddwaamu olwa Maradona.

Ku myaka 16, Maradona yayitibwa ku y'eggwanga ku myaka 18, yali awaanyisiganya omujoozi ne bakafulu b'ekiseera ekyo okwali ne Franz Beckenbauer. Ku myaka 19, Maradona yali awezezza ggoolo 100.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....