TOP
  • Home
  • News
  • Bukedde bw'agabula tewali awakana - Aba bodaboda

Bukedde bw'agabula tewali awakana - Aba bodaboda

Added 27th November 2020

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba
mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu akafulumira mu Bukedde buli lunaku.

Bino byabaddewo ku Lwokusatu akawungeezi, abavuzi ba boda abaakulembeddwa ssentebe wa siteegi y'e Makerere, Donozio Ssempeebwa bwe bajjuzza obukonge obuwerako nga baagala okulinnyisa emikisa gyabwe egy'okuwangula ebirabo Bukedde
by'abategekedde ku Ssekukkulu eno.

"Tukubiriza buli muvuzi wa boda mu Kampala n'ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo
okwetaba mu kalulu ka Gabula Ssekukkulu nga bayita mu kujjuza obukonge obuwerako." Ssempeebwa bwe yasabye.

Yawagiddwa banne okwabadde Stuart Arinaitwe eyagambye nti takyasubwa lupapula lwa Bukedde okuva akakonge kano lwe kaatandika okufuluma.

N'agattako nti kino akikola kuba akimanyi gy'okoma okujjuza obukonge n'emikisa
gy'okuwangula. Ekirala nti alina obwesige mu Bukedde kuba guno si gwe mulundi ogusoose okuddiza abasomi be.

Okwetaba mu kalulu kano gula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku 1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge.

Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera. Bw'omaliriza,
akakonge kaleete ku ofi isi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe akuli okumpi.

Ate ku Bukedde Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa "Merry
Chrismas" nga luzannyiddwa.

Bw'okuba essimu nga gwe owookusatu, ojja kuba muwanguzi ogende mu ‘supermarket'
ya Mega Standard weefunire ebyassava.

Ne ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde. Gabula Ssekukkulu awagiddwa UgaChick, Mary and Jesus Wines
ne Mega Standard supermaket.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...

Biden n'embwa ye.

Biden aleese embwa ze mu Wh...

JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo...

Abakyala nga basanyukira Ashraf Nasser owa NRM awangudde ekya meeya wa jinja Southern division.

Owa NRM awangudde obwameeya...

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division....

Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.

Bamuwadde fotokopi eriko eb...

Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa,  mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo...