TOP
  • Home
  • News
  • Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

Added 27th November 2020

Museveni

Museveni

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba ayingire mu nsonga eno.

Mu 2019 Pulezidenti Museveni yawaayo obuwumbi 11 okuyamba abasomesa okweggya mu bwavu kyokka kigambibwa nti abakulira ekitongole kya Micro Finance Support Center mwe baayisa ssente zino zaabulankanyizibwa.

Nelson Mwanda omusomesa e Busia yategeezezza Lt. Col. Edith Nakalema owa Anti-Corruption Unit nti embeera gye balimu nzibu kubanga amasomero gaggalwa.

Abasomesa okwogera bino babadde basisinkanye Nakalema e Kaazi - Busabaala mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu Wakiso gye bali mu kutendekebwa naddala eby'obukulembeze.

Mu September w'omwaka guno abakungu basatu okuli akulira ekitongole kino John Peter Mujuni, ow'ebyensimbi John Mwebembezi ne Jalia Birungi avunaanyizibwa ku kuwola ssente baasimbibwa mu kkooti ne bavunaanibwa okubulankanya ssente zino.

Ate omusomesa Joan Asiimwe Baryaruhaga yagattibwako nga kigambibwa nti ono ku akawunti ye kwe kwayitanga ssente zino. Abasomesa 300 be babadde e Kaazi nga basoma ku bukulembeze ne mwoyo gwa ggwanga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

John Bosco Aseya Azuma (ku ddyo) eyawangudde obwameeya bwa Lugazi.

NRM yeddiza Njeru, FDC n'et...

MUNNAKIBIINA kya NRM Yasin Kyazze awangudde obwa Mmeeya wa Njeru Municipality. Kyazze awangudde n'obululu 12,743...

Ali Nganda Mulyannyama (NUP) awangudde ekya  mmeeya wa Makindye.

Abawangudde mu Kampala beetala

EBYABADDE byakava mu kubala obululu mu kulonda bammeeya ba munisupaali za Kampala byabadde biraga nti Joyce Ssebuggwawo...

Joyce Ssebuggwawo (wakati) ng’ava okulonda.

Ekiwanguzza abanene mu kalu...

Abanene okuli mmeeya w'e Lubaga, Joyce Ssebuggwawo 65, owa FDC bagudde mu kalulu ka Bammeeya eggulo. Mmeeya wa...

Nsubuga ng’ali mu kkooti e Masaka.

Gwe baasibira e Kitalya awa...

OW'EKIBIINA kya NUP eyasibwa mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yasangibwa ne magaziini ezibaamu amasasi,...

Wasswa nga bamuyingiza akaduukulu.

Abadde amenya amayumba g'ab...

OMUVUBUKA eyakwatiddwa ku gw'okumenya amayumba g'abantu yeewaddeko obujjulizi ng'enju gye yasoose okumenya bwetabaddemu...