TOP
  • Home
  • News
  • Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

Added 27th November 2020

Rtd. Sgt. Kyazike

Rtd. Sgt. Kyazike

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu ssente ze obukadde 13 ze yalina ne bazimubbako. Kati wuuno alaajanidde Gavumenti n'abazirakisa okumuyamba okufuna w'abeera.

Nasiimu Kyazike 70, yawummulira ku ddaala lya Sgt. mu ggye lya UPDF ng'ali nnamba RAV/026035. Mu kiseera kino asula mu kaloogi akamu ku Kaleerwe mu Ssebina zzooni. Yategeezezza nti, yayingira amagye mu 1985 oluvannyuma lw'abazadde be okufa okutuusa lwe yagawummula mu 2016 ne baamuwa akasiimo.

Yagasseeko nti nga bamaze okumuwa akasiimo waliwo abasajja abaamulimbalimba ne bamuteeka mu mmotoka nga bamusuubizza okumufunira enju ewedde mu bitundu by'e Kawempe ne bafundikira nga bamukubye kalifoomu ne bamubbako obukadde 13.

Yagambye nti baamusuula ku luguudo ng'eno abadduukirize we baamuggya ne bamutwala ku poliisi y'e Kawempe.

Yayongeddeko nti, yazaala abaana bana, ababiri baafa ababiri kitaabwe yabatwala e Kenya nga kati talina w'abeera watuufu. Ayongeddeko buli mwezi afuna ssente 200,000/- okuva mu magye, yali yeewola ebbanja mu bbanka era olumu ssente z'okupangisa kaloogi zimubula n'afuna ebbaala w'ayinza okusula.

"UPDF yansasula ate bampaayo ssente 200,000/- buli mwezi naye bbanka ezitwala okumalayo ebbanja lyabwe. Nsaba alina obuyambi okunziruukirira. UPDF ne bw'esalawo okuzizaayo mu bbaalakisi sigaana kubanga ne we bagenda okunziika simanyiiwo", Kyazike bwe yategeezezza.

Kyazike mu kiseera kino talina ssimu okuggyako eya Ronald Ssebugwawo ali ku 0754516667 ng'ono yamuwa ku buyambi okuli n'emmere.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ng'ozimba oyinza okwekubira bbulooka oba okugula eziwedde.

Aguze bbulooka eziwedde n'a...

BULI muntu abeera n'ekika oba ekirooto ky'ennyumba gy'ayagala okuzimba. Mulimu ababituukiriza kyokka abamu ne balemererwa...

Ono bamukubye akalulu e Men...

KATEMBA abadde mu kifo awagattirwa obululu e Kololo owa NRM Kayigo Kikulwe abadde yeeyita America olw'amaanyi ge...

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie alojja ennaku gy'ala...

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde...

Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.

Gwe baakutte ng'abba e Kawa...

ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi...

Omubaka Kayemba.

Ebbeeyi y'emmwaanyi, amalwa...

Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro...