TOP
  • Home
  • News
  • Balabudde abaserikale abatulugunya Kyagulanyi

Balabudde abaserikale abatulugunya Kyagulanyi

Added 28th November 2020

Bobi Wine ne mukyala we Barbi e Kiboga.

Bobi Wine ne mukyala we Barbi e Kiboga.

AB'EDDEMBE ly'obuntu balabudde nti bagenda kuwawaabira abaserikale abatulugunya abeesimbyewo, buli muserikale bagenda kumuvunaana ng'omuntu.

Dr. Livingstone Ssewannyana akulira Foundation for Human Rights Initiative yategeezezza Bukedde nti, bagenda kukungaanya lipooti okuva mu bantu abatulugunyizibwa ku buli muserikale akikoze bamutwale mu kkooti ng'omuntu kino tebajja kukiteeka ku gavumenti.

"Ebintu ebyo ebikolebwa bibeere nga birondoolwa kubanga mu maaso eyo tugenda kuggulawo emisango ku bantu abo abakola ebikolwa ebityoboola eddembe", Ssewannyana bwe yaggumizza.

Okwogera bino yabadde ayanukula ku mbeera eyabaddewo ng'eyeesimbyewo Robert Kyagulanyi ali ku kaadi ya NUP (Bobi Wine) ne ttiimu gy'atambula nayo okunoonya akalulu baasazeewo okusula ku kkubo e Migyera mu Nakasongola oluvannyuma lwa poliisi n'amagye okubagaana okusula mu wooteeri yonna.

David Lewis Lubongoya ssaabawandiisi wa NUP yategeezezza Bukedde nti, Bobi Wine yabadde ategese olumaliriza okukuba olukuhhaana e Kiryandongo addeyo e Hoima gy'abeera asimbula okugenda e Kyankwazi gye yabadde alina okunoonya akalulu ku Lwokutaano wabula ne bamulemesa. Bwe baasazeewo okuvuga bagende basule e Migyera nayo baasanze poliisi yabalindiridde ddana n'ebagaana okufuna we basula.

Wabula Lubongoya yagambye nti bakimanyi buli kimu poliisi ekikola kubasoomooza babeereko ebikyamu bye bakola naye tebagenda kugwa mu butego bwabwe misoni yaabwe ya kugenda mu maaso n'enteekateeka zaabwe.

Ebbaluwa NUP mwe yayisizza okwemulugunya eri akakiiko gye baawandiise nga November 26, erambika abantu baabwe abazze bakwatibwa, poliisi okuzibira Kyagulanyi ekkubo n'okumulemesa okusisinkana abantu ne banokolayo mmotoka ya poliisi; UP 5727 eyatomedde omuwagizi waabwe e Bundibugyo n'emutta.

Baaloopye abaserikale nga Frank Mwesigwa eyaduumidde ne bamukwatira e Luuka wiiki ewedde. Baategeezezza akakiiko nti, kino kibaviiriddeko okulemwa okutuuka mu disitulikiti nga Masaka, Mpigi, Kalungu, Kamuli, Buyende, Mbarara ne Kiruhura.

BYABAKAMA AWANDIIKIDDE OCHOLA
Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yawandiikidde Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola n'amutegeeza nti, afunye okwemulugunya okuva mu bavuganya ku bwa pulezidenti nti poliisi ebalemesa okutuuka mu bifo gye baategeka okusisinkana abantu baabwe.
Yalabudde nti enkuhhaana zino zikkirizibwa mu tteeka erifuga ebyokulonda kwa pulezidenti. Ebikolwa bya poliisi bivuddeko obujagalalo n'okulwanagana ebiteetaagisa ekintu ekiwa ekifaananyi ekibi.

Kyagulanyi (wakati) Nga Yeebaase Mu Mmotoka E Migyera.

BANNADDIINI BALAZE OKUTYA
Ebigenda mu maaso byewanisizza bangi emitima, ku Lwokuna ekibiina ekigatta enzikiriza ezenjawulo mu ggwanga Inter Religious Council of Uganda (IRCU), Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kazimba, Dr. Joseph Sserwadda, Bishop Joshua Lwere n'abalala baasinkanye ssentebe w'akakiiko Byabakama.

Baamuloopedde ensonga ez'enjawulo nti abeesimbyewo poliisi ebagaana okutuuka ku bantu be banoonyamu akalulu mu bifo bye bategese n'emikutu gy'amawulire. Baasabye akakiiko kakwatagane n'akakiiko akalambika emikutu gy'empuliziganya (Uganda Communications Commission) abantu baweebwe omukisa okukozesa emikutu kyenkanyi.

ABAZUNGU BALABUDDE
Amawanga g'Omukago gwa Bulaaya okuli; Yitale, Girimaani, Norway, Iceland, Bufaransa, Denmark, Belgium wamu ne Australia nga gayita mu kitebe kyago wano mu Uganda baasabye wabeerewo okunoonyereza okwetengeredde ku bantu abattiddwa wiiki ewedde nga November 18, 2020 n'abaabatta bavunaanibwe.

Basabye ebibiina byobufuzi n'abeesimbyewo bakomye okukozesa olulimu olukuma omuliro n'okusoomooza era bateeke mu nkola ebiragiro ebiyamba okutangira okusaasaanya Corona.

Eggulo ku Lwokutaano nga Bobi agenda e Kiboga, baakedde kuyiwayo baserikale abaabadde bateevuunya nga munyeera ng'amagye galawuna buli kafo n'obuwunju bwonna mu byalo okutangira abantu okukuhhana.
.


  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....