TOP
  • Home
  • News
  • Sheikh Muzaata talina Corona - basawo

Sheikh Muzaata talina Corona - basawo

Added 28th November 2020

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu
kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde okulinnya.  Kyokka ebyavudde mu kumukebera biraga nga talina corona.

Sowed Sulaiman Muwonge, mutabani wa Muzaata amulabirira mu ddwaaliro lya IHK
e Namuwonge yagambye nti abasawo baabawadde ebyavudde mu kukebera Muzaata
ku Lwokuna olweggulo.

"Allah asaasidde Sheikh Muzaata ebyavudde mu kumukebera bikomyewo nga talina corona", bwe yagambye.

Kyokka n'agattako nti abasawo baategeezezza ffamire nti bakyamukuumira mu kifo
ky'abayi kubanga ssukkaali we ali waggulu. Puleesa nayo eri waggulu.

Okulinnya kwa ssukaali abasawo baakitadde mu kubeera ng'abadde n'ebirowoozo bingi
n'obutawummula okumala ebbanga.

Muzaata yaweebwa ekitanda ku Ssande ewedde. Kyasooka kulowoozebwa nti alumizibwa musujja kyokka ne kizuulwa nga ssukkaali ne puleesa birinnye.

Ekirala ng'alina obubonero bwa corona kyokka bwe yakebeddwa kigambibwa nti
kyazuuse nga tamulina.

Dr. John Katamba ow'e Mulago yagambye nti ssukaali okulinnya kiva ku bintu ebiwerako okuli okuba n'ebirowoozo ebingi, okulwala, obutakola dduyiro, obutamira
ddagala ttuufu mu kiseera ekituufu n'okulya ennyo emmere eteriimu kirungo kya ssukaali (hypoglycaemia).

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...

Miriam Wayirimo eyavuganyizza ku kya mmeeya wa Njeru munisipaali ng’alonda ku muzikiti e Namwezi.

Okulonda bwe kwabadde e Lug...

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi...