
Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.
Dr. Ahmed Ssengendo akulira yunivaasite y'e Mbale alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (IOC). Alondeddwa ku kya Ssaabawandiisi avudde mu ggwanga lya Chad nag ye Hissen Taha. Ono amaze ebbanga lya myaka 25 ng'akulira yunivaasite Y'obusiraamu ey'e Mbale. Atandiseewo n'endala nga mu Arua.