TOP
  • Home
  • News
  • Full Figure azadde 'Museveni'

Full Figure azadde 'Museveni'

Added 1st December 2020

Full Figure nga yaakazaala.

Full Figure nga yaakazaala.

JENIFFER Full Figure Nakanguubi azadde omwana mulenzi. Yazaalidde mu ddwaaliro
lya Paragon e Bugoloobi eggulo ku ssaawa nga 10:00 ez'olweggulo.

Bbebi Wa Full Figure

Full Figure eyeewuunyisizza abamu olw'olubuto lwe babadde balowooza nti lukyali, omwana yamutuumye lya Museveni De Pearl Kairos.

Full Figure nga muwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga ez'enjawulo omuli
n'ebyabayimbi, awezezza abaana bana kyokka taata waabwe gw'agamba nti dokita, tamwogera, agamba nti oyo wuwe teyeetaaga kujaajaamya.

Yagambye nti abaagala okumumanya beeteregereze bbebi we ono kubanga afaananira
ddala taata we.

ZAABADDE essaawa 6:50 ez'omu ttuntu ku Ssande ng'akasana keememula, Semei Wessaali n'abaamuwerekeddeko ne bayingira mu luggya lwa bakadde ba Agnes Nambi.

Ku ssaawa 8:30, emikolo gy'okwanjula egy'obuwangwa mu nju gyabadde giwedde,
olwo nga Wessaali afuuse omuko omujjuvu mu luggya lw'omugenzi Sensero
Ddamulira, azaala Nambi.

Ekyaddiridde kwabadde kulya n'okunywa. Ku ssaawa 10:00 ez'olweggulo, Agnes yafulumye ng'akulembeddwa omuyimbi Irene Namatovu olwo enduulu n'esaanikira
ekifo gattako engalo obwedda ebigendera ku nnyimba nga ne Agnes bw'ayimba
n'okubiibya.

Mu kiseera kino ne minisita w'ebyenjigiriza ebisookerwako, Rosemary Nansubuga
Sseninde we yatuukidde n'atuula okumpi ne Wessaali.

Nambi Ng'ayita Wakati Mu Baganda Be Abaamukoledde Ekiyitirirwa.

Wessaali ye mumyuka w'atuukirwako amawulire mu Bukedde olupapula. Era yaliko atuukirwako amawulire Agataliiko nfuufu aga Bukedde Ttivvi.

Minisita Sseninde yayogedde ku Wessaali ng'omusajja omuntumulamu, omukozi, alimu eddiini era n'agumya Nambi nti afunye omusajja omutuufu.

Omukolo gwawedde ku ssaawa 12:00 ez'akawungeezi olwo buli eyawerekedde ku
Semei n'aweebwa entanda ey'ekijjukizo ky'omukolo guno.

Baakugattibwa ku Lwokuna luno nga December 3, mu kkanisa y'Abadiventi e
Kireka. Frank Walusimbi owa NTV ye yabadde kalabaalaba wa Wessaali.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....