TOP
  • Home
  • News
  • Faaza Katoogo afiiridde mu buliri

Faaza Katoogo afiiridde mu buliri

Added 1st December 2020

Omugenzi Fr. Katoogo

Omugenzi Fr. Katoogo

ABAKRISTU b'e Kyotera baguddemu encukwe, Faaza abadde ajjanjaba mukulu we bw'asangiddwa ng'afiiridde mu buliri mu nnyumba y'Abasesedooti ku Lutikko e
Kitovu e Masaka!

Fr. Joachim Katoogo 70, y'omu ku Basesedooti ababadde abaggundiivu mu Ssaza ly'e Masaka gy'abadde amaze emyaka 45.

Faaza Katoogo yajaguzza emyaka 45 mu Busesedooti nga August 17, 2020 ng'omukolo gwali ku kyalo ewaabwe e Kisunku.

Y'abadde ajjanjaba mukulu we, Rev. Fr. Denis Mayanja 85, nga naye ali mu mbeera mbi mu ddwaaliro ekkulu e Masaka era omugenzi gye yavudde mu ddwaaliro akawungeezi
k'oku Ssande awummulemu kuba yabadde atawaanyizibwa puleesa ne Ssukaali.

Faaza Katoogo yavudde Mutukula gy'abadde akolera obuweereza okugenda okutwala mukulu we Faaza Mayanja mu ddwaaliro ng'ono abadde abeera mu Rest House e Kitovu.

Yavudde mu ddwaaliro ku Ssande nga teyeewulira bulungi n'asalawo asooke yeebake addeyo mu ddwaaliro ku makya alabe ku mulwadde ate naye akeberweko ku puleesa.

Faaza Sekiwunga  ye yabadde amukimye, amutwaleko mu ddwaaliro n'amusanga nga yafudde dda!

Omugenzi Faaza Katoogo ne mukulu we Faaza Denis Mayanja gw'abadde ajjanjaba baazaalibwa abagenzi Pio Kaggwa ne Gertrude Nalubega abaali ab'oku kyalo
Kisunku.

Omu ku baffamire ye eyali Pookino Vincent Ssebbowa Mayiga yategeezezza nti ekyalo
Kisunku kifiiridwa omusajja abadde ayagala ekitundu kye kw'ossa okuyamba ne ku bizibu ku kyalo.

"Tuzaalibwa wamu era tukuze wamu. Faaza Katoogo Katonda yamuwa ekirabo kyamagezi, abadde mukozi nnyo era ku kyalo kuno y'asinzaako eddundiro
ly'embizzi ery'amaanyi. Aweeredde abaana ku kitundu bangi, yali musomesa ku seminaliyo e Bukalasa ate era ye yasooka okuzimba ebizimbe ebyasooka ku ssomero lya Gavumenti erya Kisunku P/S," Pookino Mayiga bwe yagasseeko.

Omugenzi era abadde munnamawulire omutendeke. Akulira ebyamawulire mu Ssaza Katolika e Masaka, Fr. Ronald Mayanja yategezeezza nti omugenzi waakuziikibwa
leero ku Lwokubiri ku limbo ya Bafaaza ku Seminaliyo e Bukalasa mu Kalungu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....