TOP
  • Home
  • News
  • Okuwandiisa abayizi ba P7, S4 ne S6 kuwedde

Okuwandiisa abayizi ba P7, S4 ne S6 kuwedde

Added 1st December 2020

Jennifer Kalule Musamba

Jennifer Kalule Musamba

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga kimalirizza okuwandiisa abayizi ku mitendera
egy'enjawulo okuli aba P7, S4 ne S6 abagenda okukola ebigezo ebyakamalirizo.

Omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule Musamba yategeezezza nti we bwatuukidde
eggulo ng'abayizi 745,647 aba P7 bamaze okwewandiisa, S4 bawandiise abayizi 329,620 ate S6 bawandiise 97,560.

Ebifo ebituulirwamu abayizi okwetooloola eggwanga biri 19,811 nga kuliko amasomero
ga pulayimale 13, 971 abayizi we bagenda okutuulira, aba S4 ebifo we baganda okutuulira biri 3,662 ate S6 ebifo we bagenda okutuulira biri 2,178.

Wabula kalule yagambye nti omutimbagano amasomero kwe gayita okuwandiisa abayizi abagenda okutuula ebigezo, eggulo baatuuse okunnyuka nga wakyaliwo abayingizaamu ebikwata ku bayizi basobole okutuukiriza okubawandiisa ku lunaku olwabadde
lusembayo.

Yayongeddeko nti okuwandiisa abayizi nga bwe kuwedde, UNEB egenda kufulumya ebikwata ku bayizi abeewandiisizza okutuula ebigezo, olwo abakulira amasomero
babiwa abayizi beetegereze ebibakwatako.  Bwe mubaamu ensobi, bisobola okutereezebwa nga bajjuza ffoomu gye batwala ku UNEB ng'ebigezo tebinnatuuka
kukolebwa.

UNEB yateekawo ennaku z'omwezi okuli; March 1, 2021 abayizi ba S4 kwe batandikira
okukola ebigezo byabwe, aba P7 bagenda kutuula ebigezo byabwe nga March 30 ne 31 ate S6 batandika ebigezo byabwe nga April 9, 2021.

Kalule awadde abazadde amagezi okutuukirira abaamasomero babategeeze nnamba z'abayizi (index number) bakebere okukakasa oba ddala abaana baabwe bawandiisiddwa.

Okukebera ogenda mu ssimu yo w'oweerereza mesegi, teekamu e Reg lekawo ebbanga
oteekemu ‘index number' bw'aba wa P7 teekawo PLE, owa S4 teekawo UCE ate S6
wandiikawo UAEC oweereze ku 6600. Ojja kufuna obubaka obukukakasa oba omwana wo bamuwandiisizza.







  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...

okulonda e Lwengo tekujjumb...

OKULONDA mu bitundu bye Lwengo kubadde kw'abitege nga ebifo ebironderwamu abalondesa babadde bakonkomalidde mu...

ANATALIA Ozze yennyamidde o...

ANNET Nambooze amanyiddwa nga Annatalia Oze olumaze okusuula akalulu ke n'ategeeza abantu nga bwagenda okubakulembera...

Mayiga ng'ayogera.

Abantu okulonda Bobi Wine m...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye baalonzeemu mu kalulu k’Obwapulezidenti...

Ffeffekka Sserubogo

Okulonda ssentebe e Kayunga...

OKULONDA Ssentebe wa disitulikiti ne bakansala b'e Kayunga kutandise kikeerezi olw'abalonzi okulwawo okugenda mu...