TOP
  • Home
  • News
  • Abaakatale k'e Kasubi bajjuzza Gabula wa Bukedde

Abaakatale k'e Kasubi bajjuzza Gabula wa Bukedde

Added 1st December 2020

Ssentebe Ronald Zibu (wakati) n’abasuubuzi nga bajjuza akakonge ka Gabula.

Ssentebe Ronald Zibu (wakati) n’abasuubuzi nga bajjuza akakonge ka Gabula.

AKALULU ka Gabula Ssekukkulu kongedde okukwata bakasitoma ba Bukedde omubabiro, nga n'abasuubuzi ab'akatale k'e Kasubi bakeetabyemu.

Baakulembeddwa ssentebe waabwe, Ronald Zibu eyagambye nti emirundi giweze ng'abasuubuzi mu katale k'e Kasubi bawangula ebirabo okuva ku Bukedde mu biseera by'amazaalibwa.

‘Ffe ng'abasuubuzi buli mwaka tubeera tulindiridde December kutuuka twewangulire ku birabo kubanga ebya Bukedde tubigoberera bulungi ate tulina n'obujulizi bwa bannaffe abaawangula mu myaka egiyise.'' Zibu bwe yakkaatirizza ku Lwomukaaga.

Yakubirizza buli musuubuzi nga bulijjo okujjuza akazannyo ka Gabula bawangule ebirabo kibataase ne ku kusaasaanya ennyo mu kaseera kano ng'ebyenfuna bitaaguddwataaguddwa embeera y'ekirwadde ku Corona.

Okwetaba mu kalulu kano gula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku 1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge. Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera. Bw'omaliriza, akakonge kaleete ku ofiisi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe eyo gy'oguze amawulire.

Ate ku BUKEDDE Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa "Merry Chrismas" nga luzannyiddwa. Bw'okuba essimu nga ggwe owookusatu, ojja kubeera muwanguzi ogende mu ‘supermarket' ya Mega Standard weefunire ebyassava.
Ne ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde.

Gabula Ssekukkulu omwaka guno awagiddwa kkampuni y'ebyenkoko eya UgaChick, Mary and Jesus Wines ne Mega Standard Supermaket. Abantu abalala abalina omutima omugabi bakyasobola okwegatta ku Bukedde okwongera ku birabo ebinaagabibwa mu Gabula Ssekukkulu

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu abatandise okudda mu kibuga.

Abantu batandise okudda mu ...

EMIRIMU gy'obusuubuzi mu Kampala gyongedde okudda mu nteeko oluvannyuma lw'okulonda okwabaddewo ku Lwokuna lwa...

Dr. Namulwana

Obuganda bukungubagidde Dr....

OBWAKABAKA bukungubagidde omugenzi Dr. Florence Namulwana Nsubuga Bwanika eyafudde ku Ssande obulwadde bwa ssenyiga...

Babirye

Omusajja yatutundako ekiban...

ABAKAZI abasuulawo abaana olw'okuba abasajja babakyaye kikyamu. Olina okutuula n'okuza ezzadde lyo okusinga okubalekera...

Nabilah ne Lukwago

Olutalo lwa NUP ne NRM luzz...

OLUVANNYUMA lwa NRM ne NUP okuvuganya ennyo mu kalulu ka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti, kati olutalo luzze...

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

Ababaka abayise mu ttanuulu

ABABAKA bamu okuyingira palamenti bakumyumya nga lutabaalo, kubanga yabadde nsiitaano nga baabuuse ebiwonvu n'emigga....