
Buyongo n'ebyakola.
EBINYEEBWA by'otunda nga bya mpeke bikolere ekibalo okolemu ebintu eby'enjawulo oyongere okubifunamu.
Abalimi abamu babirima ne babitundira ku misiri nga tebannaba na kubikungula kulaba kye bayinza kufunamu. Abalala babikungula ne babikaza oluvannyuma ne babitundira mu bikuta. Ate abalala batwala n'obuvunaanyizibwa obubisusa ne bifuuka bya mpeke nga wano w'abitundira.
Wabula singa obitetenkanyiza n'obikolamu ebintu eby'enjawulo ojja kubifunamu okusinga atunda nga bw'obikungudde.
OKUBISIIKA N'OBISABIKA
Bisiike bikale bulungi oluvannyuma obyongereko omutindo ng'obisabika mu bipapula oba akaveera akalabika obulungi oyawukane ku mulala abisena ku kajiiko. Bye wandibadde otunda 200/- obitunda ku 500/- ng'obisiba mu bungi. Ate okyayinza n'okugifuula bizinensi ennene ng'obisiika n'obiguza abayizi abaddayo ku masomero. Oba ng'obigaba mu Supermarket.
ENSAANO Y'OKUTABULA N'OGIRYA
Ebinyeebwa bino era osobola okubisekula n'ofunamu ensaano gy'okozesa obutereevu mu mazzi n'olya.
EKIPOOLI
Osobola okubisekula n'okolamu ekipooli nga kino kirina akatale kagazi kubanga bakirya ku mugaati, okukirya nga bwe kiri, okukifumba n'okola enva.
By'okolamu ekipooli biyonje bulungi ng'oggyamu kasasiro, obunyeebwa obukaddiye oba ebyawumba kubanga bino birwaza.
EBYETAAGISA OKUKOLA EKIPOOLI
l. Ebikebe bya pulasitiika mu sayizi ez'enjawulo
2. Ebinyeebwa
3. Ekinu oba ekyuma ekibikuba
EKIBALO KY'EBINYEEBWA
I.Kkiro ensuse ya 5,500/- ne 6,000/-
II. Weetaaga kkiro emu okukola obukebe bubiri bwa 250gm obwa 5,000/-. Kiba kitegeeza nti kkiro emu ogifunako 4,000/- oba 5,000/-.
Sayizi endala 430gm etundibwa 9,000/- buli kamu ate 750gm gwa 15,000/-.
III. Bw'oba otunze mu bungi buli kakebe okafunako 2,000/-.
Wabula ebinyeebwa bino osobola okugifuula bizinensi ng'obiguza abayizi nga buli kkiro ya 7,000/- ku 8,000/-
Ssinga ofuna abazadde abagulira abaana baabwe ebinyeebwa bino abawerako obeera obafunamu ssente ezisobola okukubeezaawo.
Biwandiikiddwa Sarah Zawedde
okuva ku Pius Buyungo ayongera omutindo ku binyeebwa