
Gloria Nakiboneka
POLIISI ya Uganda eri mu kiyongobero oluvannyuma lw'okufiirwa omupoliisi Gloria Nakiboneka (ASP) abadde akulira ekitongole ky'abaana n'ebyamaka poliisi y'e Kabalagala .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiraanao, Patrick Onyango agambye nti Nakiboneka yafudde kiro nga yeebase era essaawa ze yafudde tezaategeekese .
"Bamusanze afudde mu nnyumba ye e Kitemu, mu disitulikiti y'e Wakiso . Abadde abeere ne bbebi we ow'emyezi omukaaga ne yaaya. Abadde tawulira bulungi okuviira ddala ku Lwokutaano wadde ng'abadde akyali mu luwummula olw'okuzaala," Onyango bwe yagambye.
Omulambo gwatwaliddwa e Mulago okwongera okugwekebejja.
Nakiboneka yeegatta ku poliisi mu 2014. Yazaalibwa nga September 1,1986. Kitaawe ye Ben Musisi, omuserikale w'amakomera ne nnyina ye Beatrice Baguma.
Emisomo yagitandikira ku St. Kizito Primary School, n'agenda e Bukandula College Gombe mu S1 okutuuka S.4 ne yeegatta ku Luzira Lakeside College gye yasomera haaya oluvannyuma n'agenda e Makerere University, gye yafuna ddiguli.
Akozeeko ku poliisi ez'enjawulo omuli ; Bududa, Mpigi, and Kabalagala.
"Poliisi efiiriddwa nnyo omukazi omukozi ate ow'empisa," Onyango bw'ategeezezza.