TOP
  • Home
  • News
  • Omuwendo gw'abalina siriimu gweyongedde mu Buganda

Omuwendo gw'abalina siriimu gweyongedde mu Buganda

Added 1st December 2020

Steven Ndibowa (ku kkono) omukugu okuva mu Baylor College of Medicine ng’aggya omusaayi ku Swaibu Sebyala ku lunaku lw’ensi yonna olwa siriimu mu 2018.

Steven Ndibowa (ku kkono) omukugu okuva mu Baylor College of Medicine ng’aggya omusaayi ku Swaibu Sebyala ku lunaku lw’ensi yonna olwa siriimu mu 2018.

EBIKUNG'AANYIZIDDWA ebikwata ku kawuka akaleeta siriimu okwetooloola eggwanga wakati w'omwezi gwa April ne June biraze nti ekitundu ky'amasekkati ga Uganda oba Buganda kye kisinza abantu abakebeddwa ne bazuulwa nga balina akawuka.

Aba Uganda Gender and HIV Reporting Dashboard, abageraageranya omuwendo gw'abantu be basanze nga balina akawuka nga bagiggya ku baba bakebeddwa mu malwaliro agatali gamu be baakungaanyizza bwino ono.

Ekitundu kino eky'amasekkati kyawulwamu emirundi ebiri; Central 1 eyakutte ekisooka
okubaamu abalina akawuka abangi erimu disitulikiti Buikwe, Bukomansimbi, Butambala, Gomba, Kalangala, Kalungu, Kyotera, Lwengo, Lyantonde, Masaka, Mpigi, Rakai, Sembabule ne Wakiso.

Central 2 eyaddiridde okuba n'abaakawuka abangi mulimu disitulikiti ya Buvuma, Kassanda, Kayunga, Kiboga, Kyankwanzi, Luweero, Mityana, Mubende, Mukono, Nakaseke ne Nakasongola.

Disitulikiti eziri mu Central 1 baazuddeyo abakyala abalina akawuka 6,617 ku abo 103,461 be baakebedde ate abasajja 1,918 ku 50,121 be baakebedde.

Omuteeko ogwokubiri, ku bakyala 105,338 baasanzeeko 2,886 abalina akawuka ate
abasajja 52,311 be baakebeddeko baazuddeko 1,590 abalina akawuka.

Kampala ali mu kyakusatu  Ebyazuuliddwa biraga nti Kampala eri mu kifo kyakusatu,
ng'abaazuuliddwa abalina akawuka baabadde abakazi 1,693 ku bakazi 54,496 abaakeberwa ate abasajja 1,047 be baasangiddwa n'akawuka ku basajja 22,105 abaakeberwa.

Bw'otunuulira emyaka gy'abantu abaasangiddwa n'akawuka, abavubuka abawala
abali wakati w'emyaka 20-24 be basinze okukosebwa nga bali 8,355 ate abalenzi bali 1,323.

Abawala wakati w'emyaka 25-29 babadde 4,609 ng'abalenzi mu myaka egyo bali 2,113. Mu ngeri y'emu, abavubuka abawala wakati w'emyaka 30 -34 bali 2,939
n'abalenzi 2,379.

We baabakeberedde, ng'abafuna okubudaabudibwa n'okufuna eddagala eriweweeza
ku kawuka wamu n'obujjanjabi abali wakati w'emyaka 20 -24 abawala bali 5,886 n'abalenzi 1,102 bokka, wakati w'emyaka 25 ne 29 abakazi 5,083 n'abasajja 1,944 ate wakati w'emyaka 30 ne 34 abakazi bali 3,195 n'abasajja 2,248.

Charles Otai avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu mu kitongole kya Uganda AIDS Commission, yagambye nti aba The Uganda Gender and HIV Reporting Dashboard bawa amawulire agakwata ku kawuka mu bujjuvu okusinziira ku kifo, ekitundu
n'emyaka. Kino kiyambako okumanya muntu ki eyeetaaga obuyambi n'awookumusanga.

Dr. Musoba

Dr. Nelson Musoba agamba nti omuwendo gwe bazudde omungi gwa bantu abagenda mu malwaliro nga balina endwadde ez'enjawulo ne basalawo okwekebeza okumanya bwe bayimiridde ku mbeera y'akawuka ne bafundikira nga babasanze bakalina.

Lwaki omuwendo gw'abalina akawuka gulinnya mu Buganda?
Dr. Peter Mudiope, akola ne minisitule y'ebyobulamu, okulinnya kw'omuwendo gw'abantu abalina akawuka akitadde ku kubeera nti baakyusa mu ngeri ze bayitamu okukebera abantu.

Mudiope annyonnyola nti okukebera kuno kwakolebwa nga balina ekiti ky'abantu be baluubirira okusinga bwe kibadde mu biseera ebiyise nga bakuba olusiisira awantu ne bakebera buli muntu ajja.

Omulundi guno be bazudde n'akawuka babadde bangi okusinga abatakalina kubanga
baakebera buli muntu eyagenda mu ddwaaliro mu kiseera ekyo.

Okusinziira ku Musoba, baddereeva ba ttuleera nabo bavunaanyizibwa ku kusaasaanya akawuka kubanga waliwo ebitundu by'otunuulira ebisangibwa ku nguudo ezitwala ebimotoka ebinene.

Baddereeva bagula abakazi (bamalaaya) ekiyinza okuviirako okusiiga abalala obulwadde.

Okusinziira ku Musoba, disitulikiti eziri mu Central 2 muzingiramu eziri ku luguudo lw'e Gulu ekiyinza okubeera nga kivudde ku bavuga emmotoka ennene nga batwala ebyamaguzi e South Sudan.

Mu ngeri yeemu, disitulikiti nga Lyantonde ne Mbarara obulwadde bungi ng'emu ku nsonga be baddereeva ba ttuleera.

Ebifo by'oku bizinga nga Kalangala waliyo abavubi ku myalo wabula mu biseera by'omuggalo wakati wa April ne June omuwendo gw'abantu abagenda mu malwaliro okwekebeza n'abakozesa eddagala eriweweeza ku kawuka erya ARVs gwakka.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...