TOP
  • Home
  • News
  • Ensonga 9 eziremezza siriimu mu bantu

Ensonga 9 eziremezza siriimu mu bantu

Added 1st December 2020

Abamu ku bakola ogw’okubudaabuda abalwadde ba siriimu mu Kampala.

Abamu ku bakola ogw’okubudaabuda abalwadde ba siriimu mu Kampala.

OKUGGYAKO ng'abantu bonna basituse ne bafungiza okumalirawo ddala obulwadde bwa siriimu, Gavumenti yokka tesobola kumulwanyisa n'emumalawo wadde efubye kuba kati, abalina akawuka kano bangi bali mu bulamu obulungi.

Abalina akawuka leero kizibu okulwalalwala, eddagala weeriri mu budde ate ku bwereere, tebakyasumbuyibwa birwadde ng'okubutukabutuka, okukubwa kisipi, ssaako okugwa ku ndiri, ate banyirira, kasita omuntu amira obulungi eddagala lye.

Naye obulwadde buno gye bakomye okubunafuya, ate abantu gye bakomye okwongera obutakyabutya. Abasawo abakola ku kubudaabuda abalina siriimu balaze ebintu ebivuddeko abantu obutatya bulwadde buno, wabula ne balabula nti ate kino kyongedde okusaasaanya obulwadde, era nti abantu tebasaanye kwerabira nti wadde eddagala weeriri naye obulwadde buno tebuwona.

Ensonga ezireetedde abantu okuggwaamu okutya okukwatibwa siirimu;
1. Eddagala lya ARVs erisirisa akawuka ne katazaala era ne katakola bulabe bwa maanyi mu balina siriimu, lyeyinuzza abantu ne bateekuuma kimala.

2. Tewakyali bubonero bulaga nti omuntu alina akawuka akaleeta siriimu. Obubonero omuli ebirwadde nga; kisipi , okumyuka emimwa, okukogga n'okubutukabutuka, tebikyaliwo. Kati abalwadde ba siriimu weesanga nga banyirira n'okusinga abalamu. Kino nakyo kyeyinuza abantu nga bakimanyi nti teri ajja kubategeera nti balina obulwadde.

3. Obutasiiga mulala; Olw'edda-gala erigenze livumbulwa okulinnya siriimu ku nfeete, abantu bakitegedde nti omuntu asobola okwegatta n'alina akawuka ka siriimu ye n'atakafuna. Kino nakyo kibeeyinuza naddala bwe bawulira nti eriyo abaagalana, ng'omu akalina kyokka ng'omulala takalina naye ne babeerawo ne bazaala n'abaana abalamu.

4. Abalina akawuka balina omukisa okuwangaala. Abantu abalina siriimu basobola okuwangaala n'okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe mu bulamu. Edda omuntu bwe yakwatibwanga siriimu ng'afa mangu, naye kati tekikyaliwo. Kino nakyo kiyinudde bangi kuba bakimanyi balina obuwangaazi wadde bakafunye.

5.Enkola ya ‘Test and Treat', kati omuntu bwakeberebwa n'asangibwa ng'alina akawuka akaleeta siriimu, atandikirawo okumira eddagala. Mu nkola eno empya, eddagala lyebasa akawuka ne katasobola kwalula, omuntu n'abeera mulamu ng'abalala.

6. Okukebeza amaaso, abantu abalina akawuka kano olw'okuba eddagala weeriri, banyirira, nakyo kireetedde abantu obutakyatya bulwadde. Kasita alabisa n'amaaso ge n'alaba ng'omuntu anyirira alowooza nti mulamu.

7. Eddagala lya Post Exposure Prophylaxis (PEP), eriweebwa abantu nga yeegasse n'alina gwateekakasa, n'amusuubira okubeera n'akawuka akaleeta siirimu.

Lino limuweebwa mu bwangu naalikozesa ne liziiyiza akawuka okutambula era n'atakwatibwa. N'eddagala lya Pre- Exposure Prophylaxis (PRE-PEP), erikozesebwa abaagalana ng'omu alina akawuka ate ng'omulala talina, okuziyiza omu okusiiga omulala, nalyo liyinudde abantu.

8. Abantu obutamanya bwe bayimiridde ku kawuka ka siirimu; Bangi beetaba mu nsonga z'omukwano nga tebatya kawuka era nga tebeekuumye lwa nsonga nti bangi tebamanyi bwe bayimiridde ku nsonga y'akawuka kano.

10. Okwagala ennyo ssente; Oyinza okusanga omuvubuka ng'agamba nti, ye okufa obwavu waakiri afa siriimu. Kale ne bw'amanya nti omuntu gw'agenda naye alina siriimu, tafaayo, kasita amanya nti agenda kumuwa ssente ze yeetaaga.

OBUZIBU BW'OBUTATYA SIRIIMU
I.Abantu obutatya kawuka, kireetedde eggwanga lyonna akatyabaga, obulwadde bwa siriimu ne bwongera okusaasaana mu bantu mu ggwanga.

II.  Kyongeza ensaasaanya ya Gavumenti ku ssente zeegulamu eddagala ly'abalwadde ba siriimu kuba ssinga omuwendo gw'eyongera kitegeeza ne bajeti egenda kw'eyongera. Kati Uganda erimu abantu abalina akawuka ka siriimu abasukka mu bukadde bubiri, kyokka buli omu Gavumenti emusaasaanyizaako ssente eziri wakati wa 150,000/- ne 200,000/- buli mwezi. Ssinga omuwendo gw'eyongera, n'ensaasaanya egenda kw'eyongera.

Ate abasawo abakugu mu bulwadde buno, buli omu emusaasaanyizaako obukadde obutakka wansi wa bubiri, ate abayambako ne bafuna ezitakka wansi wa 500,000/- omwezi. Kuno kw'ogatta ebikozesebwa mu kujjanjaba, kale eggwanga lyonna liba mu katyabaga ng'abalwadde beeyongedde.

III. Ssente ezigenda ku kawuka ka siriimu bwe zeeyongera, kitegeeza wajja kubaawo ebirala ate ebinyigirizibwa, mu malwaliro agagaba eddagala ly'akawuka ka siriimu, ssente ezifunibwa ebitundu 70 ku buli 100 zigenda ku kawuka kano, olwo obulwadde obulala ne bugendako ebitundu 30 ku buli 100 byokka ebiba bisigaddewo.

Ky'ova olaba amalwaliro agamu otuukawo nga tewali ddagala, ssente ezisinga nga zaagenda ku ly'akawuka ka siriimu.

IV. Abantu abalina akawuka kano bwe beenyigira ennyo mu bikolwa by'obwenzi ate bongera okugatta obuwuka obulala mu mibiri gyabwe, ne bwongera okusajjula embeera. Kino kiyinza okunafuya obuserikale bw'emibiri gyabwe ate ne kizuukusa kali akaleeta siriimu omuntu n'alwala, oluusi kufa.
V Eky'abantu okweyongera okukwatibwa akawuka ka siriimu ate kireetawo ebbula ly'eddagala lino, ate ekiyinza okutuzzaayo emabega gye twasookera abantu baddemu okufa amangu n'okulabika obubi.
Wadde eddagala eriweweeza sirimu weeriri, naye era kimalako emirembe omuntu okumiranga eddagala buli kaseeera.

Weesanga abamu ng'amira empeke munaana buli lunaku, ate kitwala n'obudde bungi okwewuubanga mu malwaliro okufuna eddagala n'okujjanjabibwa mu kifo ky'okukolamu ebikulaakulanya.
Ekisingako, omuntu yeekuume akawuka kano, kuba weekali ate

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabalabirizi Kazimba ng’abuulira mu kusaba eggulo.

Abaawanguddwa temwekwasa ba...

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye baminisita ba Pulezidenti Museveni abaawanguddwa...

Ababaka ba NUP abaalondeddwa; Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North (ku kkono), Seggona owa Busiro East,Mathias Mpuuga ne Abdala Kiwanuka (ku ddyo) bwe baabadde bagenda okwogerako ne bannamawulire.

Aba NUP bafunye obujulizi b...

ABAMU ku bakulembeze ba NUP n'ababaka abaawangudde akalulu bategeezezza nga bwe balina obujulizi mu bitundu byabwe...

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...