TOP
  • Home
  • News
  • Ttiimu y''abato eri mu za mpaka za Afrika ez'omupiira.

Ttiimu y''abato eri mu za mpaka za Afrika ez'omupiira.

Added 1st December 2020

Ivan Boogere

Ivan Boogere

Mu Afrika U20
Uganda 3-1 Kenya

GGOOLO za Ivan Bogere (2) ne Kenneth Semakula zaayambye The Hippos okwesogga empaka za Afrika ez'abali wansi w'emyaka 20. Empaka zino zaakubeera Mauritania omwaka ogujja.

Baakubye Kenya ggoolo 3-1 eggulo, mu mupiira ogwazannyiddwa ku Black Rhino Academy Sports Stadium, mu disitulikiti y'e Karatu e Tanzania.
Okutuuka ku fayinolo, kitegeeza nti Uganda egenze butereevu mu za Afrika, ng'erimu ku mawanga abiri (2) okuva mu kitundu kya CECAFA.

Kati The Hippos erwanira kikopo kya CECAFA, ekomewo n'obuwanguzi obujjuvu.
Morley Byekwaso, atendeka ttiimu eno, yagambye nti wadde baayiseewo, ekigendererwa kyabwe kya kuwangula kikopo era bakyalwana okutuusa nga bakituukirizza.
"Tulina okudda mu Uganda n'ekikopo kuba buli mupiira gwe tuzannya omutindo gw'abazannyi gweyongera okulinnya," Byekwaso bwe yategeezezza.

Uganda yaakuttunka ne South Sudan oba Tanzania abaazannye oluvannyuma, ku fayinolo ezannyibwa enkya ku Lwokusatu.

Okutuuka ku semi Uganda yakulembedde ekibinja ku bubonero 4, nga yakubye Burundi (6-1) n'okugwa amaliri (0-0) ne South Sudan.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nannyonjo ng'agenda okulonda n'abalongo be.

Eee...mpise mu tanuulu okuw...

Mpise mu tanuulu okuwangula owa NUP, Nnaalongo Harriet  Nanyonjo owa  NRM,  bw'alojja bye yayiseemu okuwangula...

Oulanyah

Oulanyah alangiridde okwesi...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah agambye nti mwetegefu okuttunka ne Rebecca Kadaga ku kifo kya...

Capt. Zizinga waakuziikibwa...

MAJ. Olivier Zizinga 84, munnansiko eyali omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu nsiko gwe baalumiriza okumuwa...

Fr. Musaala.

Musaala awolerezza bannaddi...

FAAZA Anthony Musaala agambye nti kikyamu okukissa ku Klezia nti yeyuddeko NRM obutakola bulungi mu kalulu mu kitundu...

Pulezidenti Museveni.

Museveni mwetegefu okutabag...

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni agambye nti mwetegefu okutabagana n’abooludda oluvuganya Gavumenti oluvannyuma...