TOP
  • Home
  • News
  • Omwana amaze ennaku 4 ng'abuze bamusanze yatemulwa ku muliraano

Omwana amaze ennaku 4 ng'abuze bamusanze yatemulwa ku muliraano

Added 2nd December 2020

Janista eyattiddwa.

Janista eyattiddwa.

OMWANA amaze ennaku nnya nga bamunoonya, bazadde be baawunze omulambo gwe bwe gwazuuliddwa mu kazigo ku muliraano.

Janista Kanyike 7, abadde asoma mu P2 mu Real Standard Primary School e Nansana- Gganda. Omulambo gwe gwazuuliddwa mu muzigo gwa Jacob Ssessanga eyakazibwako erya Okwim.

Omwana okubula yagenda ne banne ku ssomero okusoma kookingi ku Lwokuna oluwedde. Banne bagamba baayawukana naye ng'akyama awaka kyokka eka teyatuuka. Kigambibwa nti Ssessanga yamuwamba n'amuyingiza mu kazigo ke mwe yamutugidde. Kigambibwa nti yasoose kumusobyako.

Abatuuze abalala okumanya nti omwana abuze, baasoose kulaba bipande kwe yabadde anoonyerezebwa nga bitimbiddwa okwetooloola ekitundu kya Gganda n'ekyalo Nsumbi gy'abadde abeera.

Omulambo gwa Janista gwazuuliddwa ku Mmande essaawa 4 ez'oku makya. Okutegeera nti yattiddwa, waliwo omuvubuka eyabadde azze mu maka ga jjajja we Rosemary Nalukenge, okukima amazzi era bwe yawulidde ekiwunya okumpi n'awaka, ng'ali n'abaawaka baalondodde ekivundu gye kyabadde kiva.

Oluvannyuma kyazuuliddwa nti kyabadde kiva mu gumu ku mizigo egyesudde akabanga okuva ku nnyumba ya Nalukenge, jjajja wa Janista.

Ono Poliisi Gw'enoonyerezaako.

Jjajja Wa Janista Ng'azirise.

Doddy Kyambadde omusomesa wa Janista yategeezezza nti omuzigo omwabadde muva ekiwunya gwabadde muggale n'ekkufulu ng'okuggulawo abatuuze baasoose kukubira poliisi y'e Gganda eyazze n'abaserikale ne bamenya oluggi nga bali wamu n'aba LC.

OMUGENZI BAASOOKA KUMUSOBYAKO


OLUVANNYUMA lw'abaserikale okumenya oluggi, baakakasizza nti omwana Janista eyabadde anoonyezebwa ye yabadde attiddwa. Poliisi bwe yeekebezze omulambo, yakizudde nti obulago bwe bwabadde buliko ekiwundu kyokka nga n'embeera omulambo gye gwasangiddwaamu yabadde eraga nti yali asoose kusobezebwako. Omulambo era gwasangiddwaako ebigoye ebyabadde bimusibiddwa emikono n'amagulu.

OMUKOZI ABADDE ALABIRIRA JANISTA ATTOTTOLA
Shadia Nassonko omukozi ewa Nalukenge, jjajja wa Janista era nga y'abadde amulabirira ne muto we, yategeezezza nti ku Lwokuna yagezaako okunoonya Janista nga tamulaba kyokka aba ali mu nnyumba n'abaako eddoboozi eryefaananyiriza erya Janista lye yawulira wabweru kyokka n'atakifaako nnyo kuba lyawulikika omulundi gumu.

Yagambye nti mu ku noonya Janista talina waataatuuka nti era ne ku muzigo gw'omuvubuka amanyiddwa nga ‘City' yatuukawo n'amubuuza oba yali amulabyeko.

Agattako nti ekiseera we yamutuukirako yali aggalawo luggi lwe kyokka n'amutegeeza nga bwe yali tannamulabako.

Rose Mary Nalukenge jjajja wa Janista yategeezezza nti kyewuunyisa nti bamaze ebbanga ng'omwana bamunoonyeza mu bitundu ebyesudde ekyalo, kyokka ng'ali mu nnyumba ya muliraanwa waabwe, kinnya na mpindi.

Nalukenge yagasseeko nti omuvubuka ono abantu abasinga babadde tebamumanyi, nga mupya ku kitundu, kyokka nti ye abadde amumanyi ng'akola ogw'obuzimbi.

Poliisi y'e Gganda yasooka kuggulawo musango gwa kubula kwa muntu ku fayiro SD:24/27/11/2020 kyokka oluvannyuma lw'okuzuula omulambo, fayiro yafuuliddwa ya ttemu.

POLIISI EKWATA OMUTEMU
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti baliko omuvubuka Ssessanga agambibwa okuba nga ye yasse omwana ono gwe baakutte era ng'ekyakola okunoonyereza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....