TOP
  • Home
  • News
  • 'Pulezidenti tuyambe ku muganda waffe akozesa offiisi yo okutubbako ekibanja'

'Pulezidenti tuyambe ku muganda waffe akozesa offiisi yo okutubbako ekibanja'

Added 2nd December 2020

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde Pulezidenti Museveni okubataasa ku muganda waabwe, Hakimu Rukenge.

Ono bamulumiriza  nti akozesa obuyinza bwe bagamba nti abuggya mu maka g'obwapulezidenti okwekomya ettaka kitaabwe lye yabalekera erisangibwa ku kyalo Kabale Cell mu ggombolola y'e Birere mu Disitulikiti y'e Isingiro.

Abaana bano abaasangiddwa ku Kkooti Enkulu ey'e Mbarara gye baddukidde okubataasa,
bagamba nti Rukenge ajja n'abaserikale baamagye nga yeeyita omu ku bayambi ba pulezidenti ku byokwerinda n'atuuka n'okugobaganya abantu bebaaguza ku kibanja.

Omusango guno guli mu maaso g'omulamuzi Joyce Kavuma era nga gwayongezeddwaayo
okutuuka nga December 13, omulamuzi lw'anaawa ensala ye.

Rukenge bwe yatuukiriddwa Bukedde yategeezezza nti talina ky'ayinza kwogera ku bintu ebiri mu kkooti, balinde ensala yaayo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...