
Wessaali nga yaakamala okugattibwa ne kabiite we Nambi. Ku kkono ye Frank Walusimbi omusomi w'amawulire ku NTV.
Semei Wessaali omumyuka w'atuukirwako amawulire mu Bukedde olupapula akubye embagaa kabiite we Agnes Nambi.
Wessaali yaliko atuukirwako amawulire Agataliiko Nfuufu aga Bukedde
Baagattiddwa olwaleero, mu kkanisa y'Abadiventi e Kireka.
Frank Walusimbi owa NTV ye kalabaalaba wa Wessaali ate abamu ku bawerekedde ku ku mbaga mwe muli; Bbosa Gozanga akola ku online ya Bukedde, Kuteesa George William omusomi w'amawulire ga Gataliiko Nfuufu, Wilson Ssemmanda owa Bukedde olupapula n'abaana b'abagole.
Omukolo gwetabyeko abantu bangi omuli n'akulira olupapula wa Bukedde Mw. Geoffrey Kulubya n'abalala.