TOP
  • Home
  • News
  • Sheikh Muzaata waakusiibulwa ekiseera kyonna - Ndirangwa

Sheikh Muzaata waakusiibulwa ekiseera kyonna - Ndirangwa

Added 3rd December 2020

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata

Supreme Mufti, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa, agambye nti embeera ya Sheikh Nuhu Muzaata egenda etereera.

Bino yabyogedde mu lukiiko lwa bannamawulire eggulo n'atangaaza ne ku bibadde byogerwa nti Muzaata yaweebwa butwa.

" Muzaata obulwadde obumuluma bwabulijjo era amawulire amalungi gali nti eddagala limukozeeko bulungi era ekiseera kyonna agenda kusiibulwa Ndirangwa bwe yagambye.

Ndirangwa  era yakikaatiriza nti Sheikh Muzaata talina bulwadde bwa Covid 19 nga bwe byogera.

"Mbakubiriza  mwenna okwongera okusabira Sheikh Muzaata okusinga okwogera ebitaliiko mutwe na magulu ku bulwadde bwe," Ndirangwa bwe yagasseeko.

Wiiki bbiri emabega, Muzaata yaddusibwa mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital ng'ali bubi.

Muzaata ye dayirekita wa Dawa era omwogezi w"Abasiraamu b'e Kibuli.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....