
Wetaka
MUNNA FDC avuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa Bubulo East, Chris Matembu Wetaka alaajanidde poliisi okumuddiza enkumbi eziwera 9,268 ze yawamba ne zitwalibwa ku mudumu gw'emmundu kubanga si zize za muganda we, Saul Wetaka omusuubuzi wa Hardware ng'alina edduuka mu kabuga k'e Kafu mu disitulikiti y'e Manafa.
Matembu agamba nti yalabira awo ng'amaka ge agasangibwa mu Bumufuni Cell mu kibuga ky'e Manafa gazingiddwaako abaserikale era olwatuuka tewaali kubuuza kintu kyonna wabula okutikka enkumbi
zonna ne bazitwala.
Omwogezi wa poliisi ow'ekiseera mu bitundu bya Elgon, ASP John Robert Tukei yategeezezza nti kituufu poliisi yatwala enkumbi zino naye baali bamusuubiriza
nti agenda kuzigabira balonzi mu ngeri y'okubagulirira era poliisi ekyanoonyereza okuzuula ekituufu.