TOP
  • Home
  • News
  • Bannabayabufuzi mutuyambe tufune amazzi amayonjo e Nakiwogo

Bannabayabufuzi mutuyambe tufune amazzi amayonjo e Nakiwogo

Added 4th December 2020

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba basobole okufuna amazzi kubanga kizibu kya maanyi mu bitundu bino.

Bano nga bakulembeddwa Cansala w'e Lugonjo Nakiwogo, Tadeo Kibirige
yategeezezza nti kituufu ebitundu bino tebalina mazzi era nga mu kiseera kino bagakima ku mwalo omucaafu era nga bagagabana n'ente.

Abatuuze baategeezezza nti amazzi ga taapu ge balina bagakima wala ate ga buseere ng'ekidomola kya 200/- ku 300/- noolwekyo beetaaga okuyambibwa bafune amazzi amayonjo.

Wano Mmeeya w'e Katabi, Ronald Kalema yakwataganye ne Most Venerable Bhante (Kaboggoza) okusobola okugabira abatuuze amazzi amayonjo.

 Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza) yategeezezza nti oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga talina mazzi yabonaabona nnyo n'asalawo okuzimba nayikonto ku kitebe kyabwe e Galuga naye n'asalawo n'okutandika okuzimbira abantu nayikonto mu bitundu bya Katabi Town Council n'ebirala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....