
Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.
OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku ttaka lya Gavumenti erya Kawanda Research Centre nga basima amayinja okweyimirirwa nga buli omu asasudde ssente 50,000/-.
Bano baakwatibwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga basima amayinja mu kifo ekyagaanibwa.
Baali baaweebwa ebbanga okuva mu kifo kino kyokka ne bagaana ekyawaliriza abaddukanya Kawanda Research Centre n'akulira NARO Dr. Ambroze Agona okuddukira ewa Lt. Col. Edith Nakalema alwanyisa obukenuzi abataase ku bantu abeesenza ku ttaka lya Gavumenti e Kawanda era ng'ono yakwatagana ne poliisi y'e Kawempe ne bagenda ne babakwata ne basimbibwa mu kkooti.
Baggulibwako omusango ogw'okusaalimbira ku ttaka lya Gavumenti. Abatuuze abalala nga baakulembeddwa ssentebe w'eggombolola y'e Nabweru, Robert Maseruka Mute baagenze ku kkooti okulaba nga beeyimirira abantu baabwe wabula tebakkiriziddwa
munda mu kkooti.
Omulamuzi Nalwanga asomedde abasibe emisango ebiri okuli; ogw'okwonoona obutonde bw'ensi n'okusaalimbira mu kifo ekitakkirizibwamu bantu kyokka gyonna baagyegaanye ne basaba omulamuzi abakkirize okweyimirirwa ekintu kye yakkirizza era ne beeyimirirwa buli omu ku kakalu ka ssente 50,000/-.
Wabula ye omusibe Rebecca Kasule ategeezezza nti, omwana we bwe baasibiddwa yafunye obulwadde mu kkomera.