TOP
  • Home
  • News
  • Hajji Mutumba alabudde abakulira Emizigiti ku Corona

Hajji Mutumba alabudde abakulira Emizigiti ku Corona

Added 4th December 2020

Nsereko Mutumba

Nsereko Mutumba

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba anenyezza abakulembeze mu ddiini abalagajjala ku kuteeka mu nkola ebiragiro bya Corona mu bagoberezi.

Mutumba yategeezezza nti, "nnasaaliddeko ku Muzigiti e Nakasero ne mu mirala mingi, naye bye nalabye ng'ebiragiro bya corona kumpi byonna tebigobererwa."

Mu bye yalabye mulimu; obutanaaba mu ngalo, obutakeberebwa bbugumu n'obuteesuula mabanga n'ebirala.

Yayongeddeko nti, buvunaanyizibwa bwa bakulembeze mu Mizigiti okukubiriza abantu abagenda okusaala okugoberera ebiragiro bya gavumenti olw'okwetangira ekirwadde kino.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC (ku ddyo) ng'asala ddansi.

RDC Kawonawo obuwanguzi bwa...

RDC wa Kira, Isaac Kawonawo kirabika akyamanyi okusala ddansi. Omanyi olwawulidde nti mukama we, manya Pulezidenti...

Makindye okulonda kutambudd...

Abalondesezza mu bitundu bya Kampala eby'enjawulo bategeezezza nti ku mulundi guno abantu tebajjumbidde nnyo kulonda...

Eddy Mutwe.

Eddy Mutwe ne banne basabye...

BALOOYA ba NUP baddukidde mu kkooti enkulu ne bassaayo okusaba kwabwe nga baagala Eddy Mutwe ne banne kkooti y'amagye...

Ab'e Kawempe tebajjumbidde ...

OKULONDA mu kawempe abalonzi baabadde  batono nnyo ng'abeesimbyewo obwedda babanoonya muzigo ku muzigo okubeegayirira...

Eya U20 eyingidde enkambi o...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabali wansi w’emyaka 20 ‘The Uganda Hippos’, Morley Byekwaso ayise abazannyi...