TOP
  • Home
  • News
  • Abasuubuzi be Nakasero bawadde Gavumenti nsalessale

Abasuubuzi be Nakasero bawadde Gavumenti nsalessale

Added 4th December 2020

Minisita Betty Amongi

Minisita Betty Amongi

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole kya KCCA wiiki emu nga baavudde mu katale ke baabawambako oba si kyo baakubaggulako omusango.

Nga bayita mu bannamateeka ba M/s Alaka & Co. Advocates, abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Nakasero Market Sitting Vendors and Traders Ltd. baafulumizza okulabula kwe baawadde minisita ne KCCA.

Mu kiwandiiko kya bannamateeka baabwe, abasuubuzi, bawakanya bwe bayita obumenyi bw'amateeka obwaliwo ku Ssande nga November 15, 2020 minisita wa Kampala ng'ali n'abakulu mu KCCA nga bayambibwako poliisi ne bakanyama bwe baalumba ofiisi zaabwe ne bazimenya ne baggyamu ebiwandiiko byonna ebikwata ku ngeri bammemba ba SACCO yaabwe gye baali baterekamu.

Edward Buteera omumyuka wa ssentebe w'olukiiko olubadde luddukanya akatale, yagambye nti engeri Gavumenti gye yeddizza akatale ne KCCA yabaddemu obujoozi kuba tebaasobodde wadde okuwa ekitiibwa ekiragiro kya kkooti. "Ng'abasuubuzi akatale twakafunira mu mateeka era ne bwe wabeerawo ekiragiro era tulina kusooka kuliyirirwa kuba twateekamu obuwumbi buna, nga tufuna akatale", Buteera bwe yagambye.
Ekikolwa kino bakiwakanya nga bagamba nti byagenda okubaawo nga bamaze okufuna ekiragiro kya Kkooti Enkulu ekyali kiragira embeera eyali mu katale okusigalawo. Ensonga zikyali mu kkooti.

Abasuubuzi bagamba nti akatale baakafuna mu mateeka mu 2008 oluvannyuma lwa Gavumenti okuwabula abasuubuzi abaali bakolera mu butale okusaba babweddukanyize.

Daniel Muhumuza Nuwabine

Baakola ekibiina ne batuukiriza n'emisolo gyonna egyabasabibwa KCCA era bwe batyo ne baweebwa liizi n'obuyinza okuddukanya akatale akali ku plot 4B ne 7B ku luguudo lwa Market Street.

Abasuubuzi kye bamanyi akatale k'e Nakasero tekakyali ka Gavumenti, era bonna abakaddukanya mu kiseera kino bamenya mateeka. Baagumizza abasuubuzi naddala abali mu SACCO baleme kuggwaamu maanyi kuba amateeka weegali agasobola okubayamba era bajja kuliyirirwa olw'okutaataaganyizibwa.

Edward Sekabanja omuyambi wa minisita wa Kampala yagambye nti, enteekateeka z'okuddukanya obutale mu Kampala enkadde zonna zaamenyeddwaawo ekiragiro kya Pulezidenti ekiggya.

Yagasseeko nti kati ekiriwo kya kuteekesa mu nkola Pulezidenti kye yalagidde era kwe baasinzidde okwezza obuyinza bw'okukaddukanya.

Daniel Muhumuza Nuwabine omwogezi wa KCCA yagambye nti ng'ekitongole tebannafuna bbaluwa yonna kuva mu basuubuzi be Nakasero. Bwe banaaba bafunye ebbaluwa mu mateeka amatuufu bajja kulaba eky'okukola.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....