TOP
  • Home
  • News
  • Bweguba muti omuvule gugudde -Gen. Katumba Wamala bw'ayogedde ku Muzaata

Bweguba muti omuvule gugudde -Gen. Katumba Wamala bw'ayogedde ku Muzaata

Added 5th December 2020

Gen. Katumba Wamala ng'ayogera eri abakungubazi mu maka ga Muzaata.

Gen. Katumba Wamala ng'ayogera eri abakungubazi mu maka ga Muzaata.

Gen Katumba Wamala ategeezezza nti omugenzi abadde mukwano gwe nnyo ng'era bwe guba muti omuvule gwe gwagudde mu kibira.

Yagasseeko Muzaata abadde  avaamu ebigambo ebikaawa ng'omususa naye nga bizimba ng'era n'ebwoba obadde mukwano gwe n'okola ensobi ng'akugamba gwe osalawo oba ogitereeza oba omunyiigira kyokka ye abadde tasiba busungu

Yagasseeko nti wiiki bbiri n'ekitundu nga Muzaata tannalwala yamusisinkana  ng'alina ensonga zaamubuulira ezikwatagana n'ekifo kye  awali amaka ge. Yagambye nti okufa kwa Muzaata kuwe abantu ekyokuyiga nti balina okukomya okwewalana

"Lwaki mulimba Katonda nti mumwagala nnyo nga baliraanwa bammwe mu bawalana! Mbasaba mukomye empalana kuba tewali amaanyi lunaku lwaligenda,''  Katumba Wamala bwe yategeezezza

MUFTI NDIRANGWA

Ntuusa okusaasira kwange eri Obusiraamu  n'eggwanga lyonna olwokufiirwako omuntu abadde atambulira ku mazima , Muzaata ye musajja abadde  ateerya ntama nga Basheikh bonna mu ggwanga abalekedde ebbanja  nga balina okufuna okulaba nga batambulira kw'ebyo by'azze ababuulirira.

Mufuti Ndirangwa Ne Gen Katumba Wamala Ku (ddyo).

Bannamwandu Ba Muzaata, Kulthum (ku Kkono) Ne Aminah.

Omuyimbi Haji Haruna Mubiru Naye Yabaddeyo.

Meeya W'e Lubaga Nabbosa Ssebuggwawo

Abakungubazi Nga Balya Ku Muceere

Abamu Ku Bakungubazi Mu Lumbe Lwa Muzaata.

Ono Ng'akavvula Ekifi Ky'ennyama Mu Lumbe.
NABBIRA SSEMPALA

Nabbira Ssempala avuganya ku kifo ky'obwaloodi meeya wa Kampala:Sheikh Muzaata muyigiddeko ebintu bingi. Nze buli lwe mbadde nfuna ekinsumbuwa nga mukubira akasimu. Muzaata   ye muntu eyasooka n'okumanya nti ngenda kwesimbawo ku bwa loodi Meeya , amazima Muzaata abadde musajja nnyo mu buli nsonga .

MADIINA NSEREKO

Madiina Nsereko Commissioner w'ebyettaka: Maama waffe yafa 2011 n'atulekera Muzaata ng'omukuza amazima w'afiiridde ng'omulimu gw'obukuza agukoze bulungi kuba abadde atukubira ku ssimu n'atubuuza nti baana bange muli bulungi kale tusaba Mukama ammuwuze mirembe.

EDRISA TENYWA

Edrisa Tenywa avuganya ku kifo ky'obw'obubaka bwa palamenti mu Kawempe South: Omugenzi kasita yazuula nti tweddira omuziro gumu abadde ampita mutoowe. Muzaata abadde tasosola mu bibiina byabufuzi, mu ddiini kuba n'Abalokole babadde mikwano gye, nsaba abantu tumuyigireko .

MULUMBA

Matthias Mulumba avuganya ku kifo ky'obubaka bwa palamenti mu Kawempe yagambye nti Muzaata ye musajja abadde tanyigirwa mu ttooke ng'emisana n'ekiro takyukakyuka mu bigambo  naye okufa kwe ffenna kutukubye wala.

Bweguba muti omuvule gugudde -Gen. Katumba Wamala bw'ayogedde ku Muzaata

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...