TOP

Muka Muzaata bamugobye

Added 9th December 2020

Nabunya n'abadde bba Muzaata (mu katono).

Nabunya n'abadde bba Muzaata (mu katono).

Muka Sheikh Nuhu Muzaata ayitibwa Kuruthum Nabunya Muzaata bamugobye mu nju. Agenze ne mutabani we, Anwar Ssessanga ow'emyaka 12.

Okumugoba kuddiridde olukiiko lwa ffamire olwatudde ku Mmande ne lunenya Kuruthum olwa kye baayise okutwala bakanyama awaka n'okugezaako okumenya oluggi lw'ekisenge kya Muzaata okubaako ebintu bye baggyamu.

Ku Ssande, Kuruthum yapangisizza bakanyama okumuwa obukuumi nga kigambibwa nti waliwo abaabadde bamutiisatiisa okumukolako obulabe n'okumugoba mu lumbe lwa bba.

Aba ffamire abaakulembeddwa Musa Kaboyo baayise poliisi eyakutte bakanyama ne baggalirwa e Kawempe.

Mu lukiiko olwatudde, Kuruthum yategeezezza nti yabadde yeetaaga obukuumi oluvannyuma lw'abantu abamu okumutiisatiisa.

Ekirala ye ng'abadde ne Muzaata amanyi bingi ebiri mu kisenge okuli n'ebyapa n'ebiwandiiko ebirala ebyetaaga okukuuma obutiribiri.

Kigambibwa nti Muzaata abadde atereka mu kisenge ebiwandiiko okuli n'ebyapa
by'abantu abamwesiga. Kigambibwa nti ekisenge kya Muzaata kirimu ebyapa nga 30 nga kuno kuliko ebibye ng'omuntu, n'ebirala ebyamukwasibwa abantu abamwesiga
omuli ne ffamire ezaamulonda ng'omukuza.

Mu lukiiko luno, kyasaliddwaawo Kuruthum ave mangu mu lumbe bwe baliba bamwetaaga balimuyita.

Muzaata Ne Supreme Mufti Ndirangwa Gye Buvuddeko

SIYINZA KULEKA MUTABANI WANGE - KURUTHUM
Yagenze ne mutabani we Ssessanga. Wadde nga Ssessanga teyagobeddwa kyokka Kuruthum yategeezezza akakiiko nti mutabani waabwe abadde asula mu
kisenge ne kitaawe (Muzaata) nga kati baamusibidde bweru.

N'agattako: Omwana wange ow'emyaka 12 gyokka siyinza kumuleka yekka mu mbeera erimu okusika omuguwa.

Muzaata we yafiiridde nga Kuruthum amaze emyezi esatu ng'anobye. Kyokka
Bamaseeka baabadde bamalirizza enteekateeka okubatabaganya.

Muzaata yalaama ensonga ze ziyisibwe mu mateeka ga sharia.

Sheikh Salim Bbosa eyakuguka mu mateeka ga Sharia yategeezezza nti omukazi ne bw'anoba bw'aba tafunye ‘talaka' (okwawukana) mu butongole, asigala n'obuvunaanyizibwa ku bintu bya bba.

Mu ntaputa y'amateeka ga Sharia, ne ttalaka ekoleddwa ng'omuntu alwadde era ng'ali
mu mbeera mbi, nayo tekkirizibwa kubanga kino kisobola okukozesebwa abasajja
abataagala kuwa bakazi baabwe mmaali basobola "okubatalaka" nga bakitegedde nti obulwadde obubaluma buyinza okubatta.

Kino nti kiyamba n'okwewala abantu bannakigwanyizi abayinza okukozesa omulwadde ensobi nga tali mu mbeera zeesalirawo, ne batwala ebyobugagga by'omuntu oyo mu
lukujjukujju.

Olukiiko era lwasembye okutuukirira Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa abawe lipoota ku kufa kwa Muzaata okumalawo akakunkuna ku kyasse Muzaata.

Kigambibwa nti mu ffamire mulimu aboogerera Kuruthum obubi nga bagamba nti
okunoba kwe kwakosa obulamu bwa Muzaata era abamu baakyesigamyeko
mu kusindiikiriza Kuruthum okuva mu maka.

Muzaata yafudde ku Lwokutaano oluwedde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo n'aziikibwa ku Lwomukaaga e Kigoogwa ku lw'e Bombo. Kigambibwa nti obulwadde
bwavudde ku mawuggwe n'akaluubirirwa okussa.

Aba ffamire baagambye nti okuva Muzaata lwe yaggyibwa awaka nga November 22, 2020 n'atwalibwa mu ddwaaliro tebaafunye mukisa kwogera naye.

Bagattako nti bafunye amawulire agenjawulo ku kyasse Muzaata ng'ekinaggyayo ekituufu ye lipoota y'abasawo.

Wabula ku Mmande, Sheikh Muhamood Kibaate amyuka Supreme Mufti yakulembedde dduwa ewa Muzaata ne bamusaba okutuusa ensonga zaabwe eri Mufti.

Sheikh Kibaate yabasabye okubeera abakkakamu n'okusigala nga bakolagana kibayambe okwekuumira awamu.

Aba ffamire baagambye nti bo kye bamanyi, Muzaata afudde talina mukazi. Okuva mu September 2020, nti awaka Muzaata abadde abeerawo n'abakozi ne mutabani we Ssessanga gw'abadde asula naye mu kisenge okuva Kuruthum lwe yanoba.

Kigambibwa nti Muzaata okusalawo okusula ne mutabani we yakyesigamya ku nsonga bbiri; omukwano gw'abadde alina eri omwana, kyokka era n'ensonga y'ebyobulamu ng'alina okutya nti asobola okukubwa puleesa ng'ali mu kisenge yekka ne wabulawo
ayamba.

Ennyumba Ya Muzaata Esangibwa Ku Keti   Falaawo E Kawempe.

Muzaata mu kugenda mu ddwaaliro, ddereeva we gwe yagenda naye era nti n'ekisenge
kye yaleka akisibye.

Wano omu ku ba ffamire we yategeerezza nti Kuruthum yali yanoba nga tebalaba kimukomyawo okuggyako ng'ayagala bintu okusinga omuntu gwe yali yafumbirwa.

Wabula oludda lwa Kuruthum kino lwakirabye ng'okusiiga Kuruthum enziro, bamusibire ekikookolo bamugobe mu bintu bya bba by'alinako omugabo nti kubanga
bingi babikoze bombi mu myaka 20 gy'amaze ne Muzaata.

Kyokka abaasindiikirizza Kuruthum baagasseeko nti ennyumba ya Muzaata bwe yali ezimbibwa yatuma mukazi we Amina Bugirita amabaati okugisereka. Kyokka
Amina n'akyusa n'agulamu mategula nga kino kimuwa enkizo okuvunaanyizibwa ku nju eyo n'abaana be.

Amaka ga Muzaata gali Kawempe mu Keeti Falawo era mu kiseera kino Amina y'aliwo, wadde ng'ono yali yayawukana ne Muzaata era bwe baamala okwawukana Muzaata n'awasa Kuruthum era ne Amina naye n'afumbirwa omusajja omulala.

Oludda lwa Kuruthum lugamba nti obutakkaanya obwaliwo wakati wa Muzaata ne mukazi we bufaanana n'obwo obubeera mu maka amalala gonna era nti wabaddewo
essuubi ly'okubugonjoola kyokka eby'embi Muzaata n'afa nga tebannatabagana nti naye ekyo tekisaanye kukozesebwa kusindiikiriza Kuruthum kuva mu maka
mw'abadde ne bba emyaka emingi ate nga balina n'omwana akyali omuto eyeetaaga okukulira mu maka ga kitaawe.

Muzaata yalese abaana 8 nga Kuruthum alinako omu ate Amina alinako abaana babiri. Abaana abalala abataano Muzaata yabazaala mu bakyala be yasooka okufuna
nga tannakwatagana ne Amina.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...