TOP

Owa P7 afiiridde ku ssomero

Added 10th December 2020

Abaserikale okuva ku poliisi e Kabowa nga babuuza abasomesa ba Kings Primary School.

Abaserikale okuva ku poliisi e Kabowa nga babuuza abasomesa ba Kings Primary School.

ENFA y'omuyizi wa P7 ereese akasattiro ku ssomero nga poliisi ebuuza abaliddukanya engeri omwana gye yafudde.

Abayizi n'abasomesa b'essomero lya King's P/S e Kabowa mu Kampala baabutikiddwa entiisa ng'omuyizi abadde yeetegekera okukola ebibuuzo bya PLE afudde mu ngeri ey'ekibwatukira.

Omwana ono ow'emyaka 13 yakutuse ng'abaddukanya essomero bagezaako okumutwala mu ddwaaliro wabula ne kitasoboka kutaasa bulamu bwe.

Abaddukanya essomero bannyonnyodde poliisi nti omuyizi waabwe Benny Ethiel yavudde ku ntebe gy'abadde atuddeko mu kibiina n'agwa!

Baagezezzaako okumuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro wabula nti n'afa nga bamutwala.

Bayizi banne baategeezezza nti baabadde bali mu kusoma essomo lya ssaayansi erisomesebwa ttica Peter Mubala, ku makya g'Olwokusatu era baagenze okulaba nga Ethiel aseerera mpola okutuuka ku ttaka ne baleekaana omusomesa n'ajja okumutuukako nga takyanyega, kwekuyita banne ne bamuteeka mu mmotoka ng'ali mu mbeera mbi.

Muyingo

Ebbaluwa Eraga Nti Omugenzi Abadde N'obulwadde Bw'omutima.

Bamuddusizza mu kalwaliro ka St. Jude Medical Center mu Ndeeba okufuna obujjanjabi obusookerwako kyokka eno ne bakabatema nti, omwana abadde afudde.

Omulambo baagwongeddeyo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okuzuula ekituufu ekimusse.

Okusoma mu ssomero eryo kwayimiridde mbagirawo nga balinze poliisi okujja okwekebejja ekifo n'okubuuza abaddukanya essomero ekituufu ekyabaddewo.

Kigambibwa nti waliwo abaalabye ab'essomero nga basattira ne bateebereza nti omwana yandiba nga yabadde akubiddwa kibooko nga z'ezaamuviiriddeko okufuna obuzibu era nti abo be baategeezezza poliisi okujja.

Baakyesigamizza ku bigambibwa nti waliwo omusomesa eyakedde okubonereza abayizi, wabula oluvannyuma poliisi baaginnyonnyodde engeri omwana gye yafudde n'evaawo nga terina gw'ekutte.

Akasattiro kaabadde ka maanyi ng'abayizi abamu amaziga gabayitamu olwa munnaabwe eyafudde mu ntiisa.

Rosemary Muyingo, kkansala akola ogw'okubudaabuda abaana ku ssomero lino abadde asisinkana abayizi b'essomero eryo buli Lwakusatu nti era omuyizi oyo yali yamubuulirako nti abeera awulira obulumi mu kifuba era yali yamuwa amagezi abuulire bazadde be bamutwale mu basawo bamwekebejje.

Kyokka yamutegeeza nti bazadde be bombi bali Bungereza era nti tatera kubawuliza.

Yannyonnyodde nti mu October baatwala abayizi bonna aba P7 mu JOY Medical Centre mu Ndeeba okubakebera okuzuula embeera y'obulamu bwabwe era ne kizuulwa nti omuyizi oyo yalina ekirwadde ky'omutima, era ne bawabula nti atwalibwe mu ddwaaliro mu bwangu ajjanjabibwe.

Abaddukanya essomero nti baakubira kkojja w'omwana abadde amulabirira amukime amutwale mu ddwaaliro wabula n'abategeeza nti balinde olusoma luggweeko, amutwale mu ddwaaliro mu kiseera ky'oluwummula naye tekisobose. Lipoota y'omusawo e Mulago yalaze nti omutima gw'omwana gwesibye n'afa.

Fred Lugada, akulira essomero lino yagambye nti yawulidde okuleekaana nga kuva mu kibiina abayizi gye babadde basomera era bwe yagenzeeyo n'asanga ng'omwana agudde wansi.

Poliisi y'e Kabowa ng'eri wamu ne Katwe be baakulembeddemu okukozesa siteetimenti abaddukanya essomero n'abayizi abaabaddewo ng'omwana afa nga batandikira ku musomesa Mubala eyabadde asomesa.

Akulira poliisi y'e Kabowa Vincent Bright agambye nti bagguddewo fayiro SD:35/09/12/2020 ku nfa y'omwana mwe batadde siteetimenti ezikoleddwa abaabaddewo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...