TOP
  • Home
  • News
  • Eby'okutta abantu bituuse mu Amerika. Gavt. evuddeyo ku bofiisa 7 be balumiriza

Eby'okutta abantu bituuse mu Amerika. Gavt. evuddeyo ku bofiisa 7 be balumiriza

Added 11th December 2020

Sabiiti ne Obiga Kania (ku ddyo).

Sabiiti ne Obiga Kania (ku ddyo).

MINISITA w'ensonga z'omunda, Mario Kania Obiga ayanukudde Amerika nti bw'ebeera eyagala okwogera ku nsonga z'okulonda mu Uganda nayo erina okusomoozebwa okuli ewaabwe basooke bagonjoole ebyo.

Kania yabadde ayanukula ku byateeseddwako mu palamenti ya Amerika mu kakiiko akakola ku ddembe ly'obuntu ne basalawo okusaba gavumenti ya Amerika eteeke akazito ku Boofiisa ba poliisi n'amagye mu Uganda abagambibwa okwenyigira mu kutyoboola eddembe ly'obuntu.

Ssentebe w'akakiiko k'ensonga z'ebweru mu palamenti ya Amerika (House Of Representative), Eliot Lance Engel yawandiikidde minisita w'ensonga z'ebweru mu Amerika, Mike Pompeo ng'alaga okwemulugunya kwe bazze bafuna ku Uganda n'anokolayo boofiisa musanvu okuli aba poliisi ne UPDF abagambibwa nti bazze beenyigira mu bikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu wakati wa 2016 ne 2020.

Babalumiriza nti balina kye bamanyi ku bantu abazze bakubwa amasasi ne battibwa awatali kumala kuwozesebwa, okutuusa ebisago ku bantu, okutulugunya abantu, okusibira abantu obwemage.

Amannya aganokoddwayo kuliko; Lt. Gen. Peter Elwelu, aduumira amagye ag'oku ttaka, Maj. Gen. James Birungi, aduumira eggye erikuuma pulezidenti erya Special Forces Command (SFC); Maj. Gen. Don William Nabasa, eyali aduumira SFC.

Abalala ye; Maj. Gen. Abel Kandiho, owa Chief of Military Intelligence (CMI); Maj. Gen. Steven Sabiiti Muzeyi amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga; Frank Mwesigwa, omukungu wa poliisi eyakulembedde ekikwekweto mwe bakwatidde Bobi Wine e Luuka ne Col. Chris Serunjogi Ddamulira, akulira ekitongole kya Crime Intelligence mu poliisi.

Maj. Gen Elwelu

Olukiiko lwa House Of Representatives lulagidde minisita w'ensonga z'ebweru Mike Pompeo ne minisita w'ebyensimbi Steven Mnuchin, baweeyo lipooti mu buwandiike ku buyambi bwonna mu by'okwerinda Amerika bw'ezze ewa Uganda okuva 2015.

Ekiwandiiko Eliot kye yayanjudde mu kakiiko yategeezezza nti mu November wa 2016, amagye gatta abantu abasoba mu 100 e Kasese ate mu September 2017 SFC n'erumba palamenti nga bateesa ku kuggyawo ekkomo ku myaka gy'omuntu eyeesimbawo ku bwa pulezidenti, era baalumya Omubaka Betty Nambooze n'okutuusa leero anyiga biwundu olw'okumukosa enkizi.

Ekiwandiiko kyanokoddeyo n'omubaka Francis Zaake nti yakwatibwa olw'okugaba emmere mu kiseera ng'abantu tebakkirizibwa kuva waka nti n'atulugunyizibwa n'afuna ebisago eby'amaanyi.

Ekiwandiiko kiraga nti waliwo okutya nti okulinnyirira eddembe kweyongedde mu Uganda mu kiseera kya kampeyini era nti Amerika erina okubaako ky'ekola, ssi kwogera bwogezi.

Omwezi oguwedde abantu 54 battiddwa bwe waabaddeewo okwekalakaasa nga poliisi ekutte Robert Kyagulanyi e Luuka ne bamuggalira e Nalufeenya era n'ensonga eno yateekeddwa mu kiwandiiko ekyaweerezeddwa Pompeo.

GAVUMENTI EYANUKUDDE
Minisita Kania ku lwa gavumenti yategeezezza Bukedde nti Uganda ggwanga eryetongodde era Amerika bw'ebeera erina ky'eyagala okutegeeza gavumenti ya wano, emanyi bulungi amakubo amatuufu mw'erina okuyita okusinga okubiyisa mu biwandiiko ebiweebwa ne ku bannamawulire.

Yalambuludde nti: Uganda erina amateeka n'emitendera mwe tulina okuyita. Poliisi n'amagye bwe babeera nga balina ensobi ze bakoze waliwo emitendera mwe tuyita okuzigonjoola. Amerika nayo tugisuubira okuba ng'emanyi emitendera egyo
Ng'oggyeko okutulugunya n'okutta abantu okwateekeddwa mu kiwandiiko, baagasseeko nti mu July 2018 gavumenti yabinika Bannayuganda abakozesa WhatsApp, Facebook ne Twitter omusolo gwa OTT atagusasudde tasobola kukozesa mikutu egyo.

Omwezi ogwaddako ne bakwata Omubaka Kyagulanyi n'abalala 32 ne batulugunyizibwa. Baayongeddeko nti n'eddembe lya bannamawulire lirinnyirirwa nnyo.

                   Mwesigwa

Elliot mu kiwandiiko ayagala minisita w'ensonga z'ebweru ategeeze akakiiko mu buwandiike obutasukka January 9, 2021 era baddemu okwetegereza obuyambi bwe bawa Uganda, ekkirize abaamawulire okwetaaya nga bakola emirimu gyabwe n'okukkiriza ebibiina ebirwanirizi by'eddembe era Amerika etegeeze ne banywanyi baayo mu mukago bwe bakizuula nga kyetaagisa okubaako kye bakolera awamu.
Yagambye minisita Pompeo akole bino wammanga abibawe mu lipooti gye bamusabye:

l. Amerika esisinkane gavumenti ya Uganda ng'eri wamu n'ebibiina by'ebyobufuzi, ebibiina ebirwanirizi by'eddembe bagitegeeze bye bakkaanyizzaa ku ngeri gye bagenda okutambuza okulonda nga kwawukana ku kulonda okubaddewo emyaka egiyise.

2. Okuwa lipooti mu bujjuvu ku ngeri eddembe ly'obuntu gye lizze lirinnyirirwamu emyaka egiyise, lipooti ku buyambi bwonna Amerika bw'ezze ewa Uganda okunyweza enfuga ey'amateeka emyaka etaano egiyise.

3. Okuwa embalirira ku nsimbi ezizze zisaasaanyizibwa nga bagamba nti tezitunulwamu ‘classified' balage ekituufu kye zaasaasaanyizibwako bwe kibeera weekiri.

4. Lipooti erambika ebikoleddwa mu buyambi Amerika bw'ezze ewaayo okuyamba mu East Africa ne Central Africa ne baani be bakkaanya okukolagana nabo kubanga gwe baalonda okukulemberamu talaga kabonero konna nti ataddewo abanaamuddira mu bigere n'engeri gye kiyinza okukosaamu enteekateeka zabwe mu myaka etaano egiddako.

5. Era baagala Amerika eyongere amaanyi mu kulwanyisa ku bikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu mu Uganda.
Kyagulanyi mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwa twitter yategeezezza nti batulugunya n'okutemula abantu, ne beegulumiza mu kukola effujjo nga bwe babuuza bannansi oba balina kye bayinza okubakolako.

"Ndi musanyufu ensi yonna etwegese amaaso era erina emitendera gy'ekutte okukakasa nti abatulugunyiziddwa bafuna obwenkanya." bwe yaggumizza.

EKITEBE KYA AMERIKA MU UGANDA KINNYONNYODDE:

Omwogezi w'ekitebe kya Ameriak mu Uganda, Tony Kujawa yategeezezza Bukedde nti Amerika ensonga z'eddembe ly'obuntu ezitwala nga za nkizo nnyo mu bulamu bw'abantu, era obuvunaanyizibwa Amerika bw'erina ku nsonga eyo tebukoma mu bigambo wabula n'okuteekebwa mu bikolwa.

Etteeka erirambika eddembe ly'obuntu mu nsi yonna (The Global Magnitsky Human Rights Accountability Act) likkiriza Pulezidenti wa Amerika okussa nnatti z'ebyenfuna ku muntu yenna atyoboola eddembe ly'obuntu n'okumugaana okuyingira mu Amerika singa bakakasa nti atyoboola eddembe ly'obuntu oba okwenyigira mu bikolwa by'okulya enguzi n'obukenuzi.

"Tujja kutunula n'eriiso ejjogi ku bantu bonna oba ebitongole ebyekiika mu kkubo lya demokulasiya oba abeenyigira mu bikola ebityoboola eddembe ly'omuntu wa bulijjo nga bategeka okulonda, ku lunaku lw'okulonda ne mu kiseera nga kuwedde" Kujawa bwe yagumizza.

Yagasseeko nti: Nga bwe tuzze tukyogera emabega, Amerika tejja kulonzalonza kubonereza muntu yenna aneekiika mu kkubo lya demokulasiya owa nnamaddala.
Wabula ebikwata ku kiwandiiko ekyafulumizddwa yabijulizza ofiisi ya Engel mu Amerika nti esobola okukinnyonnyolako.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...