TOP
  • Home
  • News
  • Abadde akulira akakiiko akalwanyisa envuba embi agobeddwa

Abadde akulira akakiiko akalwanyisa envuba embi agobeddwa

Added 15th December 2020

Nuwagaba

Nuwagaba

OMUDUUMIZI w'amagye, Gen David Muhoozi, agobye abadde akulira ekibinja ekirwanyisa envuba embi ku nnyanja (Fisheries Protection Unit), Lt. Col. James Nuwagaba n'amusikiza Lt. Col. Dick Kirya Kaija.

Teyakomye kukyusa bukulembeze wabula yataddewo n'akakiiko ka bantu 7 nga kakulirwa Maj. Gen. Leopold Kyanda okuddamu okwekenneenya n'okulambika entambuza y'ebikwekweto byonna ebikolebwa ku nvuba ku myalo egy'enjawulo.

Omwogezi w'amagye ag'oku ttaka, Lt. Col. Henry Obbo, mu kiwandiiko kye yafulumizza yategeezezza nti Gen. Muhoozi okukola enkyukakyuka zino kivudde ku kwemulugunya kw'abantu abakozesa n'abakolera ku nnyanja olw'obukambwe n'ebikolwa ebirala ebibatuusiddwaako ng'abajaasi okuva mu FPU bakola ebikwekweto ku nnyanja.

Yagambye nti, newankubadde waliwo ebiyinza okubeera nga tebigenze bulungi wabula okuva lwe baatondawo ekibinja kino mu 2016, kikoze kinene okutereeza eby'envuba ne kiyambako okwongera ku bungi bw'ebyennyanja n'omutindo.

Embeera eyo evuddeko amakolero agamu agakola ku kulongoosa n'okutunda ebyennyanja agawera 14 agaali gaggaddewo okuddamu ne gaggulawo era kati gakola nga gafuna ebyennyanja ebiri ku mutindo n'okufunira abantu emirimu.

Ebirungi ebivuddemu kuliko okwongera ku ssente eziva mu byennyanja okuva ku bukadde 800 mu 2018 okutuuka ku buwumbi bubiri n'obukadde 700 mu 2019.
Kyanda yabyogeredde Lubirizi ng'akulembeddemu akakiiko ke okutandika okukola emirimu ne yeebaza abatuuze abalina kye bakoze okulaba ng'ekibinja kituukiriza obuvunaanyizibwa bwakyo.

EZIMU KU NSONGA EZIGOBESEZZA NUWAGABA;
1 Bwe yali mu kakiiko ka palamenti baavunaana abaserikale abalwanyisa envuba embi nti baali basusse okutulugunya abantu ku nnyanja abamu ne babatta. Baabavunaana okuwamba ebyennyanja ku bavubi ate abaserikale ne babyekomya ne babitunda.

2 Nuwagaba yakozesa amaanyi agasusse mu kulwanyisa envuba embi basajja be bwe baakuba abantu amasasi, okubasuula mu nnyanja, ne bookya amaato nga baatandikira ku butono bwe bayita obwa ppala kyokka n'atuuka ne ku manene nga ffuuti 26 ng'agamba nti etteeka liragira 28.

3 Kigambibwa nti era babadde beekobaana n'abagagga abaleeta obutimba omuli n'obwapulezidenti bwe yalangirira nti butuufu, kyokka bbo ne babukwatira ku nnyanja nti bumenya mateeka olwo abavubi ne bafiirwa ate abajaasi ne baddamu ne babuguza abantu abalala.

4 Mu ngeri y'emu kigambibwa nti Nuwagaba ne basajja be tebaakoma ku kwasa na kwokya maato na butimba wabula baatuuka n'okwokya emyalo n'ebizinga ennyumba z'abavubi ne zitokomoka n'emmaali yaamu.

5 Mu kuvuba obwennyanja obuto, kigambibwa nti basajja be, abavubi ssekinnoomu we baali bakoma ate bbo baasukkawo bwe baakwata amasambo amanene ddala agaakazibwako "Kokota" ne bagenda mu bitundu by'e Masaka ebyennyanja gye bisinga okuzaalira ne bakokota buli kantu, ng'olukokota olumu basobola okukwasa obwennyanja obuto obuweza kkiro ezisoba mu 1,500.

6 Kigambibwa nti eno y'emu ku nsonga nti wadde baamutegeeza lunye nti engeri yokka ejja okuyamba okumalawo okuvuba obwennyanja obuto ya kuggyawo butale bwabwo, Nuwagaba yagaana okugenda okukwata obwennyanja buno mu butale basajja be ne basigala nga babutunda kyere.

7 Mu ngeri y'emu Nuwagaba mu nkola eno yasooka n'alwanyisa abantu abaali baakazibwako erya "luutu maneja" nga bano be baayambanga abatambuza obwennyanja obuto okubutuusa gye bulaga era nga baali bantu ba maanyi nga mwe mwali n'owemmotoka z'empaka, Ponsiano Lwakataka.

8 Basajja ba Nuwagaba baalabula Lwakataka nti ke banaamusanga n'ekyennyanja kyonna ne bwe kinaaba kikulu bajja kumukuba amasasi, waayita ennaku ntono ddereeva eyali avuga emmotoka ya Lwakataka n'akubwa amasasi n'afa.

9 Kyokka waayita ekiseera kitono abamu ku ba "luutu-maneja" abaali abeffujjo n'okusinga Lwakataka ne bakwatagana n'abajaasi bano obwennyanja ne butandika kutambuzibwa awatali anyega.




  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...