TOP
  • Home
  • News
  • Museveni alaze lwaki ajja kuwangula e Kasese

Museveni alaze lwaki ajja kuwangula e Kasese

Added 16th December 2020

Museveni (awanise ekigalo) ng’ava okuggulawo akatale akaatuumiddwa Kasese Central Market.

Museveni (awanise ekigalo) ng’ava okuggulawo akatale akaatuumiddwa Kasese Central Market.

PULEZIDENTI Museveni okunoonya obululu e Kasese yakutandise na kuggulawo katale ggaggadde akawemmense obuwumbi 14. Akatale ke yagguddewo katuumiddwa Kasese Central Market.

Geoffrey Ettedu Jeje avunaanyizibwa ku by'obutale mu minisitule ya Gavumenti ez'ebitundu yagambye nti akatale kaamazeewo obuwumbi 14.9 okukazimba nga
zaabadde nneewole okuva mu African Development Bank.

Akatale kagenda kukoleramu abasuubuzi 1,000 nga kalimu emidaala 467 n'amaduuka 311. Kaateekeddwaamu ekifo awalabirirwa abaana ne kkamera enkessi eza CCTV.

Bino bye bimu ku bintu Museveni by'akoze mu disitulikiti y'e Kasese mu myaka etaano ebinaasinziirwako okuwangula emitima gy'abatuuze abaagoba NRM mu disitulikiti mu 2016.

Mu kulonda okwaliwo mu February wa 2016, ekibiina kya FDC kyawangula ebifo byonna omukaaga eby'ababaka ba Palamenti. Dr. Kiiza Besigye naye yawangula disitulikiti n'obululu 132,762 nga bye bitundu 56 ku buli 100 ate Museveni n'afuna 97,367 nga bye bitundu 41 ku buli 100.

Kyokka okuva olwo Gavumenti ebadde tetudde, kuba efubye okukola ebintu eby'enjawulo omuli n'okusindika Gen. Salim Saleh akulira Operation Wealth Creation
n'asimbayo amakanda.

Ebyava mu kubala abantu mu ggwanga mu 2014, byalaga nti Kasese erimu abantu 694,987 nga mu kiseera kino basuubirwa okuba nga baweze 793,200.

Mu bajeti y'omwaka guno Gavumenti yatadde obuwumbi 1,000 mu kitongole ky'eggwanga ekya Uganda Development Corporation (UDC) ziyambeko abakola
emirimu egy'enjawulo ababadde beewola okuva mu bbanka z'ebyobusuubuzi.

Gavumenti ng'ekolagana ne kkampuni ya Rwenzori Shining Star Limited, bagenda kuzimba ekkolero ly'omunnyo abantu gwe balya e Kasese.

Ebirala ebivaamu bijja kweyambisibwa mu kkolero ly'eddagala, engatto awamu n'engoye.

Bbandi Ng'eyisa Ebivvulu Mu Kasese.

Bukya Gavumenti etandika kusindika ssente z'abavubuka mu disitulikiti e Kasese, abavubuka abawera 4,527 baganyuddwa ne ssente 2,966,438,830/-. Bano baganyuddwa okuva mu pulojekiti 370 ez'enjawulo ze bakola.

Ssente z'okukulaakulanya abakyala eziwera 1,219,701,400/- ziyambye abakyala 3,059
abakola pulojekiti 246 ez'enjawulo era bangi basanyufu.

Kuno kw'ogatta ne ssente eziweerezeddwa okukola enguudo mu disitulikiti ng'omugatte
gwa ssente zonna ziri 2,772,060,658/- mu mwaka gw'ebyensimbi guno.

Amazzi amayonjo nago geeyongedde okubunyisibwa mu disitulikiti.
Ekizibu ky'amalwaliro nakyo kyongedde okunogerwa eddagala kuba amagombolola ataano gafunye amalwaliro agali ku mutendera gwa Health Centre III okuli; Buhuhira, Bwera, Isango ne Bwesumbu.

Ebyobulimi nabyo bifiiriddwaako nnyo nga Gavumenti egaba ensigo ng'eyita mu nkola
ya Operation Wealth Creation. Ensigo z'emiyembe eziwera 657,083 zigabiddwa, ebitooke ebikolo 6,000, ennaanansi-1,110,739, Cocoa-1,440,000, emmwanyi-72,535,626.

Ssente z'emyooga zigenda kugabibwa mu buli muluka nga basinziira ku bubondo
obw'enjawulo 18. Buli mwooga gugenda kuweebwa obukadde 30 mu buli konsitityuwensi ate ogw'abakulembeze guweebwe obukadde 50.

Mu bufunze buli konsitityuwensi egenda kufuna obukadde 560 ng'abe Kampala
ne Wakiso baaweereddwa obuwumbi 50 omwaka guno.

Abamu Ku Bawagizi Ba Pulezidenti E Kasese.

EBIKYANYIGA AB'E KASESE
Kyokka ebimu ku bikyanyiga ab'e Kasese mwe muli ensonga y'Omusinga Charles Wesley Mumbere, amaze emyaka ena nga talinnya mu disitulikiti. Amagye gaamukwata nga November 27, 2016 bwe gaalumba olubiri lwe, abantu bangi ne battibwa.

Ekizibu ky'amataba nakyo kitawaanya nnyo abatuuze. Okuwaguza kw'emigga gya Nyamwamba, Mubuku ne Nyamugasani olutatadde kivuddeko abantu bangi okubundabunda olw'amaka gaabwe n'ebintu okusaanyizibwawo.

Waliwo n'abantu abakyalinda okuliyirirwa olw'emmotoka zaabwe ezisukka 50 ezaayokebwa abayeekera ba ADF abaali mu kitundu. Bagamba baasuubizibwa
okuliyirirwa ekitannaba kutuukirira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...