TOP
  • Home
  • News
  • Okufa kwa Kirunda kusattiza Bannayuganda

Okufa kwa Kirunda kusattiza Bannayuganda

Added 21st December 2020

Mufti wa Uganda, Sheikh Ramadhan Mubajje mu kusaalira Kirunda mu muzikiti gwa Gadaffi e Kampalamukadde.

Mufti wa Uganda, Sheikh Ramadhan Mubajje mu kusaalira Kirunda mu muzikiti gwa Gadaffi e Kampalamukadde.

OKUFA kw'abadde omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Uganda kwongedde okutya mu bakungu ba Gavumenti ne Bannayuganda ku kirwadde kya Corona okweyongera.

Omwoyo gwa Dr. Alhaji Ally Muwaabe Kirunda Kivejinja baagusaalidde ku Ssande ku muzikiti gwa Old Kampala kyokka wadde omulambo tegwabaddeyo nga ne Gavumenti yakkiriza abantu 200 okukuhhaana, abakungubazi tebaaweze wadde 100.

E Busoga baabadde baziika Kivejinja nga n'e Masaka baziika omubaka Robina Ssentongo abadde omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Kyotera agambibwa naye okufa Corona ekyayongedde okutiisa abantu n'abakungu mu Gavumenti.

Pulezidenti Museveni yasinzidde Hoima n'asaalirwa okufa kwa Kivejinja n'omubaka Ssentongo kyokka n'alabula Bannayuganda okukomya okusaagira mu bulwadde buno.
Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yagambye nti, "Tuli mu kutya, Allah atugezesezza na Corona, ajja kutugezesa n'enjala n'ekigezo ky'ebbula lya ssente mu nsawo n'emyoyo mingi gitwalibwe."

Yagambye nti, batandise okuziika abantu ab'obuvunaanyizibwa abawera abafudde Corona n'ategeeza nti, ababadde balowooza nti Corona bulwadde bwa baavu kati bakirabye, bukwata buli muntu n'asaba okwongera amaanyi mu kukuuma ebiragiro.

Yagasseeko nti, Pulezidenti Museveni yakola omulimu munene okutangira okusaasaana kwa Corona n'amusiima olw'engeri gye yataasa eggwanga.

Yategeezezza Katikkiro Rugunda nti, obulwadde bwa Corona bwongedde okusaasaana n'ategeeza nti, naye (Rugunda) bwamukomyayo n'agamba nti, gye bukomye okubeera obungi ate abantu gye bakomye okulagajjala.

Yayongeddeko nti, baakaziika abadde ssentebe w'omuzikiti eyafudde Corona n'ategeeza nti, baataddewo amateeka agaabwe agalina okugobererwa naddala abasaala esswala ettaano olunaku.

Yagambye nti, abasaala esswala y'oku makya, balina okugenda ku mizikiti nga bamaze okufuna wuzu okuva mu maka gaabwe, balina okwambala masiki, buli muntu alina okufuna omusaalo ogugwe, buli ayingira omuzikiti alina okunaaba eddagala ku mulyango, balina okwewa amabanga, olumala okusaala emizikiti giggalwe esswala ezisembayo ekiro, abantu bazisaalire mu maka gaabwe.

Yagambye nti, bawadde ekiragiro omuzikiti ogutaagoberere biragiro ebyo, gwa kuggalwawo.

ENGERI KIVEJINJA GYE YALWADDE
Abadde amaze ku kitanda omwezi mulamba oluvannyuma lw'okukwatibwa obulwadde bwa Corona. Abasawo e Mulago ababadde bamujjanjaba baabategeezezza nti, abadde mukadde ate ng'alina sukaali oluvannyuma yafuna okusannyalala nga kuva ku musujja.
Okuva lwe yatwalibwa e Mulago, kyategeerekese ng'abadde ajjanjabirwa mu kasenge k'abalwadde abayi (ICU).

Aba Uganda Funeral Service Nga Basitudde Mayiti Ya Kivejinja Okugissa Mu Mmotoka Eyagitutte Ku Ssomero Lya Idudi.

Abasawo baategeezezza nti, oludda lw'amawuggwe olwa ddyo lwali lwafa ekyabawaliriza okumuteekamu akapiira kasobole okumuyambako okussa.

Kino, kyakakasiddwa minisita wa guno na guli mu minisitule y'ebyobulamu, Robina Nabbanja Kivejinja bwe yabadde yaakakutuka ku Lwomukaaga.

Kivejinja yasemba okulabikako mu bantu, mu kusabira omwoyo gwa Dr. Annas Kaliisa ku muzikiti e Kibuli nga November 5, 2020 era kigambibwa nti, waayita ennaku nnya zokka n'alwala ne bamutwala e Mulago gye yafiiridde.

Mutabani we, Farouq Kirunda yagambye nti, bwe yava mu kusabira Kaliisa, waayita ennaku ntono n'alwala.

Kigambibwa nti, e Mulago gy'abadde, aba ffamire batono ababadde bakkirizibwa okumulabako era ababadde bagendayo, babadde basooka kufuna lukusa kuva mu ofiisi ya Katikkiro.

Owapoliisi Ng'agumya Owooluganda Lwa Kirunda.

PULEZIDENTI MUSEVENI AMUKUNGUBAGIDDE
Mu bubaka bwa Pulezidenti Museveni obwasomeddwa Katikkiro Rugunda ku mukutu gwa ‘zoom' kwe yayogeredde eri abakungubazi yagambye nti, Kivejinja agenda kujjukirwa ebbanga lyonna olw'engeri gye yalafuubana Uganda okufuna obwetwaze n'entalo endala ezaddirira okununula eggwanga.

Yagasseeko nti, abadde mu bulamu obw'okwerekereza ku lw'abalala ate nga wa mpisa n'okwagaliza abalala.

Yasabye aba ffamire okujaguza olw'obulamu Katonda bw'amuwadde n'ebyo byamukozesezza.

Rugunda mu bubaka bwe yasiimye abakulira Obusiraamu okuteekawo kaweefube owaabwe okulwanyisa Corona n'awa n'ebyafaayo bya Kivejinja okuva e Buyindi okutuuka lwe baanunula Uganda n'ebifo mw'aweerezza.

Yaziikiddwa mu maka ge ku kyalo Buwabe mu disitulikiti y'e Bugweri ku Ssande. Waasooseewo okumusabira okwategekeddwa mu kisaawe ky'essomero lya Bubinga Primary School.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...