TOP
  • Home
  • News
  • Kivejinja ebyobufuzi yabisomera Buyindi

Kivejinja ebyobufuzi yabisomera Buyindi

Added 21st December 2020

Kirunda

Kirunda

DR. Al-Hajji Ali Kirunda Kivejinja yazaalibwa June 12, 1935 mu disitulikiti y'e Bugweri mu Busoga.

Ffamire mw'asibuka yava mu bitundu bya Bunyoro era kigambibwa nti, baava mu lulyo lwa Omukama Agutamba Nyamutukura.

Jjajja we, Ali Muwaabe kigambibwa nti, ye yatandika Obusiraamu mu bitundu bya Busoga.

Okusoma yakutandikira mu ssomero lya Kibuli Junior School ne Busoga College Mwiri gye yava okugenda ku Madras Christian College e Buyindi gye yatikkirwa ddiguli mu by'ebisolo (Zoology).

Bwe yali e Buyindi ye yali omuwanika w'ekibiina ekigatta abayizi abava ku ssemazinga wa Afrika.

E Buyindi, yakwatagana ne Jawaharlal Nehru Katikkiro wa Buyindi eyasooka eyamusendasenda okuyingira ebyobufuzi alwanirire obwetwaze bwa Uganda.

Mu kiseera ekyo, ekibiina ekigatta abayizi abava mu Afrika mwalimu, John Kakonge, Wadada Musani, Kintu Musoke ne Bidandi Ssali era baatandika enkolagana n'ekibiina kya Indian National Congress.

Mu 1957, wali watandikiddwawo ekibiina kya Uganda National Congress nga kikulirwa Ignatius Musaazi.

Nga Uganda enaatera okufuna obwetwaze, Kivejinja yakomawo n'aweebwa obuvunaanyzibwa bw'okukulira okunoonyereza n'okukuhhaanya amawulire mu UPC wabula mu 1965 n'agobwa mu kibiina ne batandika Sapoba Printers e Katwe ne banne oluvannyuma gye baava okwegatta ku Uganda Patriotic Movement (UPM).

Mu kalulu ka 1980, UPM yasimbawo Yoweri Kaguta Museveni, UPC n'ekawangula.
Museveni bwe yasalawo okugenda mu nsiko, Kivejinja yamwegattako n'aweebwa n'ekifo eky'enkizo ku kakiiko ka Resistance Council e Luweero ne mu Kampala.

Oluvannyuma, yawahhanguka n'agenda e Nairobi mu Kenya ne yeegatta ku John Patrick Amama Mbabazi eyali ku kiwayi kya NRA ekya External Wing ekyali kisinziira e Nairobi era eno yatandika n'olupapula lw'amawulire olwa Resistance News olwali lufulumya amawulire g'ebiruubirirwa bya NRA.

E Nairobi, basajja ba Obote baamulumbayo ne bamusindiikiriza okweyongerayo mu buwahhanguse n'agenda e Vienna mu Austria. Yayitibwa Erin Lance eyali minisita w'ensonga z'amawanga g'ebweru mu Austria gye yayongerera okubunyisa enjiri ya NRA.

Bwe bawangula olutalo mu 1986, yaweereza mu Gavumenti ne ku kitebe kya NRA/M.
Yaweerezaako nga minsita w'ebigwa bitalaze, minisita w'emirimu n'enguudo, minisita wa guno na guli, minisita omubeezi ow'ensonga z'amawanga g'ebweru, omumyuka w'omulungamya w'ebyobufuzi mu ggwanga, minisita w'amawanga ga East Afrika n'omumyuka wa Katikkiro wa Uganda ow'okubiri ekifo ky'afiiriddemu. Yalondebwa mu June 2016.

Ye yali omubaka wa Bugweri mu lukiiko lwa CA wakati wa 1994 ne 1996 era yaliko omubaka wa Palamenti owa Bugweri okuva mu 1996 okutuuka 2001.

Mu 1979, y'omu ku baatandika olupapula lwa Weekly Topic oluvannyuma olweyubula ne lufuuka Daily Monitor. Y'omu ku baatandika yunivasite y'Obusiraamu e Mbale.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....