TOP
  • Home
  • News
  • Kirizze ow'e Buyenje bamutenderezza ku by'alese

Kirizze ow'e Buyenje bamutenderezza ku by'alese

Added 28th December 2020

Bannaddiini nga baziika Nganda Kirizze (mu katono).

Bannaddiini nga baziika Nganda Kirizze (mu katono).

ABANTU abeenjawulo beetabye mu kuziika omugagga w'e Matugga eyafiiridde mu dduuka oluvannyuma lw'abantu okusaawa emmere ye mu kibanja kye ekikaayanirwa.

Chrizestom Nganda abadde amanyiddwa nga Kirizze e Buyenje - Nakukuba, Ssanga mu
disitulikiti y'e Wakiso okuziika kwe kwetabiddwaako bannabyabufuzi abaakulembeddwa ssentebe wa DP e Wakiso, Dr. Elijah Kazibwe nga ye yakiikiridde pulezidenti wa DP, Nobert Mao.

Gavumenti yakiikiriddwa Maj. Gen. Samuel Kawagga, bannaddiini abaakulembeddwa
Faaza Richard Kakoma ow'ekigo ky'e Kankobe mu Mawokota n'abalala.

Faaza Kakoma yasabye abavubuka okukola ennyo batuuke okufa nga balina kye
beekoledde era balabire ku mugenzi nga bw'abadde.

Yategeezezza nti omugenzi abadde musajja mukozi era abadde ayagala abantu awatali kusosola.

Okusaba bwe kwawedde abantu abeenjawulo bayogedde ku mugenzi nga Dr. Kazibwe eyasomye obubaka bwa Mao yategeezezza nga Kirizze bw'abadde omusajja
ow'amaanyi era akkiririza mu kibiina kye, nga DP ebadde emwenyumirizaamu
kuba mu kitundu ky'e Matugga babadde bamulinamu essuubi ddene.

Kazibwe era yagambye nti Kirizze abadde yeenyumirizza mu kibiina kye era abadde mukozi nga kumpi buli luguudo oluyingira e Matugga abadde alinako ekizimbe era bano bamutaddeko bendera ya DP ng'akabonero akalaga nti abadde muwagizi
w'ekibiina kino.

Maj.Gen. Kawagga asabye abantu naddala abavubuka okubeera abakozi bagende okufa nga balina kye beekoledde.

Kawagga era yennyamidde olw'abavubuka abatafudde ku bulamu bwabwe nga gavumenti ebakubiriza okwewala ekirwadde kya Covid-19 n'agamba nti abavubuka
obulamu babuzannyiddemu nnyo.

Yasabye bannabyabufuzi okukoma okukuhhaanya abantu abangi ate nga nabo tebafuddeyo kubuulirira balonzi baabwe akabi akakirimu.

Kawagga era yagambye nti wadde omugenzi Kirizze abadde munakibiina kya DP, abadde ayagala enkulaakulana NRM z'ebeera ereese mu kitundu okuyamba abantu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...